Ekibuuzo
Ddala omuntu eyali alokoseeko asigala mulokole era tasobola kufirwa bulokole?
Okuddamu
Abantu bwebamanya Kristu ng'omulokozi wabwe, bayingizibwa mu nkolagana ekakasa okulokolebwa kwabwe okubeera okunyweevu emirembe gyona. Yuda 24 ekkakasa nti, " Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza," Amaanyi ga Katonda gasobola okukuma omukkiriza obutagwa. Kiri eri yye si ffe, okutukugira okubeera mu kuberawo kwe okw'ekitibwa. Ffe okusigala mu Katonda kiva ku Katonda okutukuumira mu yye, si ffe kwekumira bulokozi bwaffe ku lwaffe.
Mukama waffe Yesu Kristu yagamba, " nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange." (Yokaana 10"28-29b) Yesu ne Kitaawe, bombi batulina mu mukono gwabwe. Ani ayinza okutwawula okutugya mu mukono gwa Kitafe wamu n'omwana?
Abaefeeso 4:30 etugamba nti abakkiriza "yabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa." Singa abakkiriza baali basobola okufiirwa obulokozi, akabonero tekandibadewo kutuusa lunaku lwa kununulibwa, wabula okutuusa olunaku lwe baliyonoona, oba lwe baliva ku Katonda, oba lwe balitandika obutakkiriza. Yokaana 3:15-16 atugamba nti "buli alikkiriza Yesu Kristu, "alifuna obulamu obutaggwaawo". Singa omuntu asuubizibwa obulamu obutaggwaawo ate ne bumugyibwaako, kitegeeza nti tebwaali bulamu butaggwaawo. Singa omulokole yali asobola okufirwa obulokozi, ekisuubizo ky'obulamu obutaggwaawo mu Bayibuli kiba kirina obukyaamu.
Okusika omuguwa okukyasinze ku nsonga y'okusigala nga oli omulokole ebanga lyonna kuli mu Abaruumi 8:38-39, " Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe." Okusigala mu Katonda nga tuli Balokole kiva ku kwagala kwa Katonda eri abo beyanunula. Okusigala mu Katonda nga tuli Balokole kwagulwa Kristu, kwasuubizibwa Kitaawe era Kitaffe, era kunywezebwa n'akabonero ak'omwoyo Omutukuvu.
English
Ddala omuntu eyali alokoseeko asigala mulokole era tasobola kufirwa bulokole?