settings icon
share icon
Ekibuuzo

Nakamala okuteeka okukkiriza kwange mu Yesu. Kati Kki?

Okuddamu


Nakamala okuteeka okukkiriza kwange mu Yesu. Kati Kki?

Tukuyozayooza! Okusalawo kwokoze kwa kukyusa bulamu! Osaanga kkati obuuza. ki ekiddako? Ntandiika ntya olugendo lwange ne Katonda? Emitendera essatu wansi gyijja kuwa endagiriro okuva mu Baibuli. Bwoba Olina ekibuuzo kyona ku lugeendo lwo mu Katonda, kyalira omutimbagano gunno: www.GotQuestions.org/Luganda.

1. Fuba okulaba nga otegeera obulokozi.

1Yokaana 5:13 etugaamba ,"Ebyo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda." Katonda ayagala tutegere obulokozi. Katonda ayagala tubeere n'obukakafu nti tuli balokole. Mu bimpimpi, ka tuyitte mu nsoonga enkulu ezo bulokozi.

a) Ffena twayonoona. Ffena tukoze ebintu ebinyiiza Katonda. (Abaruumi 3:23)

b) Olw'ebibi byaffe , tugwaniira okubonerezebwa n'ekibonerezo eky'okwawukana ne Katonda emirembe gyonna.

c) Yesu yaffa ku Musaalaba okusasula omutango gw'ebibi byaffe(Abaruumi 5:8; 2 Abakolinso 5:21) Yesu yaffa mu kifo kyaffe, natwala ekibonerezo kyetwali tugwana. Okuzuukira kwe kwalaga nti okufa kwe kwali kumala okusasulira ebibi byaffe.

d) Katonda asonyiwa era alokola abo abateeka okukkiriza kwabwe mu Yesu- nebakkiririza mu Kufakwe ng'omuwendo ogwasasulibwa kwe bibi bwaffe (Yokaana 3:16; Abaruumi 5:1; Abaruumi 8:1)

Obwo bwe bubaka obwobulokozi! Bwoba ng'otadde okukiriza kwo mu Yesu Kristu ng'Omulokozi wo, olokose! Ebibi byonna bisonyiyidwa, era Katonda asubiza obutakuleka oba okwabuulira.( Abaruumi 8:38-39; Matayo 28:20). Jjukira nti obulokozi bwo bunywevu gguluggulu mu Kristu.( Yokaana 10:28-29). Bwoba ng'okkiririza mu Yesu yekka Ng'Omulokozi wo, Obeera mugumu nti ojja kubeera ne Katonda Mu Ggulu emirembe gyonna.

2. Funna ekanisa ennungi esomesa Bayibuli.

Tolowooza ku Kanisa ng'ekiziimbe. Ekanisa be bantu. Kikulu nnyo abakkiriza mu Yesu Okukuŋŋaana. Eyo yemu ku nsonga y'okubeerawo kwe kanisa. Komaze okuteeka okukkiriza kwo mu Yesu, ffuna ekanisa ekkiririza mu Bayibuli kukyalo kyo oyogereko n'Omusumba. Mubuliire ku kukkiriza kwo mu Kristu okupya.

Ensonga ey'okubiri ya kusomesa Baibuli. Osobola okuyiga okuteeka mu nkola ebiragiro bya Katonda mu bulamu bwo. Okutegeera Bayibuli kisumuluzo eky'okubeera n'obulamu obw'obuwanguzi era obwamanyi mu Kristu. 2 Timoseewo 3:16-17 egamba, "Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu; 17 omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi."

Ensonga ey'okubiri oyokuberawo kwe kanisa, kwe kusinza. Okusinza, kwe kwebaza Katonda olw'ebyo byonna byakoze. Katonda atulokodde. Katonda atwaagala. Katonda atugabirira. Katonda atukulembera. Tuyinza tutya obuta mwebaaza. Katonda mutukkuvu, mutuukirivu, alina okwagala, waakisa, ajjude ekisa nokusasira. Okubikkulirwa 4:11 egamba, "Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa."

3. Funna obudde buli lunaku oteeke essira ku Katonda.

Kikulu nnyo okumala obudde ng'essira tulitadde ku Katonda. Abantu abamu bakkayita "Kaseera okokusirika." Abalala babuyita budde "obwokwewaayo",kubanga ke kaseera ke twewaayo eri Katonda. Abamu basalawo kuwaayo akadde buli kumakya, ate abalala olweggulo. Kyetukayiita, akaseera ako, na ddi mu lunaku we tufuna obudde okwewaayo ssi kikulu. Ekikulu kwekuba nga buli lunaku owaayo obudde n'obeera ne Katonda. Bintu kki byetukola mu budde obwo nnga tuli ne Katonda?

d) Okusaba. Okusaba kwekwogera ne Katonda. Okumubuulira ebyo byonna ebitukwatako ne ebizibu byaffe. Okusaba Katonda okutuwa magezi n'okutuluŋŋamya. Okusaba Katonda okugabirira ebyetaago byo. Okubuulira Katonda engeri gyomwagala era gyomusiima olwebyo byakkolera.

e) Okusoma Bayibuli. Ngogasseko okusomesebwa Bayibuli mu Kanisa, Sande sukuulu oba Bayibbo sitadde,- ojja kwetaaga okwesomera Bayibuli. Bayibuli erina buli kyeweetaaga okuba n'obulamu obulungi mu Kristu. Mulimu okuluŋŋamya egeri gyosobola okusalawo obulungi n'amagezi, okumannya okwagaala kwa Katonda, okuwereeza eri abantu abalala, n'okkula mu mwoyo. Bayibuli Kigambo kya Katonda kyayogera gyetuli. Bayibuli ye ndagiriro ya Katonda etusobozesa okutambulira mu bulamu mu ngeri esanyusa Katonda era naffe etukkusa.

4. Zziimba enkolagana n'abantu abasobola okuyamba Mu mwoyo.

1 Abakolinso 15:33 etugamba, "Temulimbwaanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi. Bayibuli ejjudde okulabula eri okuwalulwa abantu ababi kwebalina kkuffe. Okumala obudde n'abantu abeenyigira mu bikolwa ebibi, kiggya tuletera okukemebwa nnaffe. Embala y'abantu abo ababi ejja tudduggaza. Kyova olaba nga kirungi okumala obudde nga twetoolodwa abantu abagaala Katonda era abewaayo mu yye.

Gezaako okufuna omukwano, oba emikwano ebiri mu kanisayo, abasobola okuyaamba era okuzzaamu amaanyi.(Abebbulaniya 3:13; 10:24). Ssaba mikwano gyo okubuuzanga embalirira y'obudde bwofuna obw'okusirika, oba okwewaayo, embalirira y'ebintu byokola. Basabe oba nawe basobola okuwa embalirira y'obulamu bwabwe nabo. Kino tekitegeeza nti oleke mikwano gyo abatali balokole. Sigala ngoli mukwano gwaabwe era obaagale. Babuulire engeri Yesu gyakyusizaamu obulamu bwo ngeera tosobola kukola ebintu byebimu byewali okola. Saba Katonda akuwe emikisa ogabane ne Mikwano gyo Yesu.

5. Batizibwa.

Abantu bangyi tebategeera kubatiza kyekki. Ekigambo Kubatiza kutegeeza kunnyika mu Mazzi. Okubatiza y'engeri y'okulangirira mu lujjudde okukkiriza kwo okupya mu Kristu, nokusalawookwo okumugoberera. Ekikolwa eky'okunnyika mu mazzi kilaga okuziikiibwa wamu ne Kristu. Ekikolwa ekyokunnyululwa mu mazzi kifaananyi eky'okuzuukira kwa Kristu. Okubatizibwa kwekussa ekimu ne Yesu Mu kuffa, okuziikibwa, n'okuzuukira kwe.(Abaruumi 6:3-4).

Okubatizibwa ssi kwekukulokola. Okubatizibwa tekukunazaako bibi byo. Okubatizibwa kikolwa kya kugonda. Okulangirira mu lujjudde okukkiriza kwo mu Kristu yekka olw'obulokozi. Okubatizibwa kikulu kubange ddaala lya kugonda – kulangirira mulwatu okukkiriza kwo mu Kristu n'okwewaayo gyali. Bwoba nga weetegese okubatizibwa, yogerako ne Pastor wo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Nakamala okuteeka okukkiriza kwange mu Yesu. Kati Kki?
© Copyright Got Questions Ministries