settings icon
share icon
Ekibuuzo

Katonda okumanya era okwawula abo abanalokoka n’abanazikirira kitegeeza kki? Ensomesa eyo Bayibuli ekiwagira?

Okuddamu


Abaruumi 8:29 esomesa nti “ Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi: era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa.” Abaefeeso 1:5 ne 11 egamba “bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe,..mu oyo naffe mwe twafuukira obusika bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe;” Abantu bangi balwanyisa ensomesa on esomesa nti Katonda yamanya era yayawula abo banalokola. Wabula, ensomesa eno ewagirwa Bayibuli. Ekikuli kwekutegeera ensomesa eno kyetegeeza, okusinziira ku Bayibuli.

Ekigambo ekivuunulwa “Predestined”(Soma Pulidesitinidi) mu byawandiikibwa wagulu kiva mu kigambo ey’okyoluyonaani proorizo (soma Pulolizo) ekitegeeza “okutegeka ng’ebintu byona tebinabaawo”, “okwaawula,” Okusalawo ku kintu ng’ebintu byonna tebinabaawo.”.Kiki Katonda kyeyateekateeka ng’ebntu byona tebinaba? Okusinziira ku Abaruumi 8:29-30, Katonda yateekateeka nti abantu abamu balifaanana omwana we, baliyitibwa, baliweebwa obutuukirivu, era baliweebwa ekitiibwa. Ekikulu kiri nti, Katonda yamanya era yagera nti abantu abamu balirokolebwa. Ebyawandiikibwa bingi biyita abakkiriza mu Kristu okuba abalonde ( Matayo 24:22, 31, Makko 13:20, 27, Abaruumi 8:33, 9:11, 11: 5-7, 28; Abaefeeso 1:11; Abakkolisaayi 3:12; 1 Abasessaloniika 1:4; 1 Timoseewo 5:21, 2 Timoseewo 2:10, Tito 1:1; 1 Petero 1:1-2, 2:9; 2 Petero 1:10). Katonda okumanya era okwawuula abao abanalokolebwa kiwagirwa Bayibuli era nsomesa egamba nti Katonda alina eddembe wamu n’obuyinza okulongako abantu abantu okulokolebwa.

Ensnga esinga okuwakannyizibwa ku nsomesa eno egamba nti Katonda taba mwenkanya. Lwaki Katonda alonda abantu bamu nabamu? Ekikulu ekisinga kiri nti tewali agwanira kulokolebwa. Fenna twayonoona era (Abaruumi 3:23), era tusaanira kibonerezo kya lubereera (Abaruumi 6:23). Olw’ensonga eyo, Katonda abeera bwenkanya atuukiridde okutuleka fenna okugenda mu geyeena emirembe gyonna. Wabula Katonda alondako abamu kuffe okuloolebwa. Abeera mwenkanya eri abo batalonze kubanga aba abawadde ekyo ekibagwaana. Katonda okusalawo okuba owekisa si butaba mwenkanya eri abalala abatolendeddwa. Tewali agwaana kintu kyonna okuva eri Katonda. Eky’okulabirako kyandibwadde kyamusajja akwaasa abantu bataano sente mu kibiina ekyabantu 20. Ekumin’abataano abatafunye sente basobola okugamba nti omusajja oyo sii mwenkanya era basobola okunyiiga? Osanga. Balina edembe okunyiiga? Nedda tebalina. Lwaki? Kubanga amusajja awadde abantu abo sente kubo tewali amubanja. Asazeewo kuba wakisa eri abamu.

Bwaba nga Katonda alonda abo abanalokolebwa, ekintu ekyo ate tekijjawo ddembe lyaffe okulonda era okukkiriza mu Kristu? Bayibuli egambad nti tulina edembe okulonda—Abo bonna abakkiriza Yesu Kristu balilokolebwa (Yokaana 3:16; Abaruumi 10: 9-10). Bayibuli telina wegamba nti Katonda agaana abamukkiriza oba asobola okugoba abo abamunoonya (Ekyamateeka 4:29). Ewamu mu kyama kya Katonda, Katonda okumanya era okwawuula abo banalokola kikolera wamu n’omuntu okuwalulibwa eri Katonda (Yokaana 6:44) era okukkiriza okulokolebwa (Abaruumi 1:16). Katonda yamanya era yayawula abo abanalokolebwa era tulina okulonda Kristu okusobola okulokolebwa. Amazima gombi matuufu. Abaruumi 11:33 egamba, “Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika!”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Katonda okumanya era okwawula abo abanalokoka n’abanazikirira kitegeeza kki? Ensomesa eyo Bayibuli ekiwagira?
© Copyright Got Questions Ministries