settings icon
share icon
Ekibuuzo

Katonda okwawulamu ebyafaaya bya Bayibuli mu biro/ebiseera ebyenjawulo kitegeeza kki? Ddala ensomesa enno ewagirwa Bayibuli?

Okuddamu


Mu kusoba ebikwata ku Katonda n’enzikiriza, ebiseera oby’okukulembera kwa Katonda byawuddwamu nga buli kiseera kyalondebwa Katonda. Y’ensomesa etunuulira ebiseera bino obyayawulwa Katonda okusobola okusengeka oba okuteekateeka ensonga z’ensi. Ensengeka ey’ebiseera eno elina ebimtu bibiri bigyawula;

1. Okuvuunula Bayibuli okusinziira ku makulu agasoola, okusingira ddala obunnabbi

2. Endowooza egamba nti Isirayeeri yanjawulo ku Kanisa mu nteekateeka za Katonda.

Ensomesa ey’okwawula ebiseera eby’obufuzi bwa Katonda eyedda yo eyogera ku biro Musaanvu ebiri mu nteekateeka ya Katonda eri omuntu.

Abakkiriza mu nsomesa eno bakkiriza mu nzivuunula ya Bayibuli nga basinziira ku makulu agasooka(literal meaning). Okutwala amakulu agasooka kiwa buli kigamba amakulu gekyandibadde nago mu nkozesa yakyo eyabulijo. Amakulu agakwekeddwa, obubonero, ebika bivuunulibwa mu ngeri yanjawulo. Kikulu okutegeera nti obubonero, n’enjogera ekwekeddwa erimu amakulu agakwekeddwa, birina amakulu agasooka emabega wabyo. Katugeze, Bayibuli bweyogera ku myaka 1,000 mu Okubikkulirwa 20, abakkiriza mu nsomesa eno bagivuunula ekiseera eky’emyaka 1,000 (ekiseera eky’obwakabaka), olw’okubanga tewali nsonga lwaki emyaka egyo givuunulwa mu ngeri endala.

Waliwo ensonga nga bbiri lwaki okuvuunula ebyandiikibwa mu makulu agasooka y’engeri esinga obulungi ey’okuvuunula ebyawandiikibwa. Okusookera ddala, mu mpisa entuufu era ezikkirizibwa, omugaso gw’olulimi gutwetaagisa okuvuunulira ebogambo mu makulu agasooka. Elulimi lwatuweebwa Katonda okusobola okuwulizigganya. Ebigambo bibya byamakulu. Ensonga ey’okubiri eva mu Bayibuli. Buli bunnabbi obukwata ku Yesu obuli mundagaano enkadde bwatukkirizibwa nga bwebwalagulwa. Amanabi bwalina amakulu agatakwekweddwa.Tewali buba bwatukkirizibwa singa buba buvuunuliddwa n’amakulu amalala oba agakwekeddwa. Eno yensonga lwaki okukozesa amakulu agasoka oba okuvuunula obunnabbi nga bwebuli kutwalibwa okuba okutuufu. Nga twekeneenya ebyawandiikibwa, bwebiba nga tebivuunuddwa nga bwebiri mu bigambo, tewali nkola yonna ekkirizibwa ndala esobola okutuuyamba okutegeera Bayibuli. Buli muntu aba aja kuvuunula Bayibuli okusinziira ku ntegeera ye. Enzivuunula ya Bayibuli eba egenda mu kumalira mu “nze nga bwenkitegeera ekyawandiikibwa” mu kifo kya “Bayibuli bweti bwegamba” Ebyembi eno y’engi abantu gyebasomu era gyebekeneenyaamu Bayibuli leero.

Ensomesa ey’okwawula ebiseera eby’obufuzi bwa Katonda esomesa nti waliwo abantu ba Katonda babika bibiri: Isirayeeri n’ekanisa. Era bakkiriza nti obulokozi bufunibwa lwa kisa okuyita mu kukkiriza kyoka—mu Katonda mu ndagaano enkadde wabula okusingira ddala mu Katonda omwana mu ndagaano empya. Abasomesa ensomesa eno bakkiriza nti ekanisa teyadda mu kifo kya Isirayeeri mu nteekateeka za Katonda era nti obunnabbi obw’endagaano enkadde obwa Isirayeeri tebwadda ku Kanisa. Era basomesa nti, ebisuubizo Katonda byeyakola eri Isirayeeri mu ndagaano enkadde (ebyensi, abaana abangi, n’omukisa) bigya kutuukirizibwa byonna mu kiseera eky’emyaka 1000 Katonda kyeyayogera mu Kubikkulirwa 20. Era bakkiriza nti, nga Katonda mu kiseera kino bwatadde esira ku Kanisa, Aliteeka esira ku Isirayeeri mu biseera ebiggya (Laba Abaruumi 9-11 ne Daniyeeri 9:24).

Abakkiriza mu byawandiikibwa mu ngeri eno era bategeera Bayibuli okuba nti etekeddwateekeddwa bu biseera musaanvu: Eby’obutamanya (Oluberyeberye 1:1-3:7), Okumanya (Oluberyeberye 3:8-8:22), Obufuzi bw’abantu (Oluberyeberye 9:1-11:32), Ekisuubizo (Oluberyeberye 12:1-Okuva 19 19:25), Amateeka (Okuva 20:1-Ebikolwa 2:4), Ekisa (Ebikolwa 2:4-Okubikkulirwa 20:3), n’Obwakabaka obw’Ekyasa (Okubikkulirwa 20:4-6).Ebiseera bino si makubo ga bulokozi, wabula ngeri Katonda gyaze akolagana n’abantu. Buli kiseera kirimu engeri omukululo ogufanagana ogulaga engeri Katonda gyaze akolaggana n’abantu ababeera mu kiseera ekyo. Omukululo guno gulimu; 1) Obuvunanyizibwa, 2) Okulemerwa, 3) Omusango, 4) n’ekisa okuweyongerayo mumaaso.

Enkola eno ey’okwawula ebiseera eby’obufuzi bwa Katonda, emaliriza evuddemu okuvuunula okuda kwa Yesu nti kulibaawo ng’Obwakabaka obwekyasa tebunabaawo era nti okukwakkulibwa kulituukawo ng’akaseera okuboonaaboona tekatuuka. Okuwumbawumba ensomesa eno, ensomesa eno esimba esira ku kuvuunula obunnabbi namakulu gabwo agasooka, ekkiriza nti waliwo enjawulo wakati wa Isirayeeri n’ekanisa era eteekateeka Bayibuli mu ngeri ey’ebiseera obwenjawulo oba obufuzi obw’enjawulo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Katonda okwawulamu ebyafaaya bya Bayibuli mu biro/ebiseera ebyenjawulo kitegeeza kki? Ddala ensomesa enno ewagirwa Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries