Ekibuuzo
Mukyala wa Kayini yali ani? Mukyala wa Kayini yali muganda we?
Okuddamu
Bayibuli tetubuulira ani yali mukyala wa Kayini. Ekyokuddamu kiri nti Mukyala wa Kayini asobola okuba nga yali muganda we, oba kizibwe we oba muntu omulala yenna. Bayibuli tetubuulira myaka Kayini jeyalina bweyatta Abeeri(Oluberyeberye 4:8). Kubanga bombi bali balimi era balunzi, kisoboka okuba nga bombi bali bantu bakulu era nga balina Famile zabwe. Adamu ne Kaawa amazima gali nti baali bazadde abaana bangi okusinga Kayini ne Abeeri betumanyi mukaseera Kayini we yatira Abeeri. Daala bazaala abaana bangi oluvanyuma(Oluberyeberye 5:4). Eky'okuba nti Kayini yatya olw'obulamu bwe ng'amaze okutta Abeeri(Oluberyeberye 4:14) , kitegeeza nti waliiwo abaana abalala bangi oba n'abazzukulu aba Adamu ne Kaawa mu kaseera ako. Mukyala wa Kayini (Oluberyeberye 4:17) yali muwala oba Muzzukulu wa Adamu ne Kaawa.
Kubanga Adamu ne Kaawa bebasooka era bebokka abaali ku nsi, abaana babwe tebalina kyakukola kirala okujako okuwasa baganda babwe. Katonda teyagaana bantu ba nyumba emu kwewasa okutuusa nga abantu baweze kunsi era nga tekyetaagisa kuwasa waluganda wo (Abaleevi 18:6-18). Ensonga lwaki amawemukirano g’abolunganda (Soma incest) gavaamu abaana abalina obuzibu ku bulamu bwabwe eri nti, abantu abazadde bano ababiri baba balina endagabuzaale ezifanaagana. Omwana azaliddwa abazadde abatali baluganda atwala endagabuzaale oba ennabuzaale (genes) okuva mu bazadde bombi. Kino kiretera omwana okutwaala endabika ya bazadde be bombi mu bintu ebyenjawulo (Katugeze ng'afaanana Maama we amaaso ate Taata na mufananako emimwa).
Abazadde babiri abalina endagabuzaale(Soma genes) ezifaanagana (katugeze omusajja ne mwanyina) bwe bezaalamu, omwana ono atwala endagabuzaale ennemu oba ezitakola bulungi ekiva ku endagabuzaale ezifaanagana okuva mu bazadde bombi.
Olukusiko lw'endagabutonde z'abantu (Human DNA code), lukyafuwazidwa okumala ebanga ddene ebirwadde by'endagabuzaale ebyeyongedde mu bungi, ne namanyi, era nga bisikizibwa okuva mu mulembe ogumu okutuuka mu mulembe omulala. Adamu ne Kaawa tebalina birwadde byandagabuzaale (Genetics defects) era kino kyabayamba n'emirembe egyaddako egyava mu bbo okuba n'ebyobulamu ebirungi okusinga ffe ab'omulembe guno. Abaana ba Adamu ne Kaawa balina ebirwaade bitono, oba n'obutaba wadde n'ekilwadde ekimu. Olw'ensonga eno tebaasobola kuba na buzibu kuwasa baluganda.
English
Mukyala wa Kayini yali ani? Mukyala wa Kayini yali muganda we?