Ekibuuzo
Bubonero kki obulaga enkomerero?
Okuddamu
Matayo 24;5-8 etuwa ebintu ebilina okutunuulirwa tusobole okukwawula enkomerero ng’etuuse. “ Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti Nze Kristo; balikyamya bangi. Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu. Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw'okulumwa.” Okweyongera kwabanunuzi ab’obulimba, okweyongera kw’entalo, enjala, endwadde n’bigwa bitalaze bwe bubonero bw’enkomerero. Mu kyawandiikibwa kino, newankubadde kituwa kulabula, tetulina kulimbibwa kubanga ebintu bino ntandikwa yabisa; era enkomerero egenda kutuuka.
Abamu ku bavuunuzi basonga ku buli kukankana kw’ensi, buli lutalo na buli kulumbibwa okukolebwa ku Isirayeeri nga akabonero akalaga nti enkomerero etuuse. Newankubadde nga bisobola okusonga ku nkomerero okutuuka, si bwebubonero bwenkomerero. Omutume Pawulo yalabula nti ku nkomerero, walibaawo ensomesa ez’obulimba nyingi, “Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani,” (1 Timoseewo 4:1) Enaku ezisembayo zogwerwako nga “enaku embi” olw’obubi bw’omuntu n’abantu abeyongerayongera “okugaana amazima” (2 Timoseewo 3:1-9; era laba 2 Abassesalonika 2:3).
Obubonero obulala buyinza okubaamu okuddamu okuzimbibwa kwa yekaalu mu Yelusalemi, obulumbaganyi ku Isirayeeri, n’enteekateeka okuteekawo Gavument emu efuga ensi yonna. Akabonero wabula akasinga okumanyikibwa akalaga enkomerero, y’ensi ya Isirayeeri. Mu mwaka gwa 1948, Israyeeri yatongozebwa ng’ensi eyetongodde omulundi ogusooka okuva mu mu mwaka gwa 70 A.D. Katonda yasuubiza Ibrayimu nti obusika bwe mulibaamu Kanani “okugirya emirembe gyonna” (Oluberyeberye 17:8), era Ezekyeri naye yalagula okuzibwa obuggya okwa Isirayeeri mu birabibwako, n’eby’Omwoyo. Isirayeeri okuba ensi ku bwayo ng’elina etaka lyayo kikulu nnyo mu nsonga z’enaku ez’enkomerero olw’obukulu bwa Isirayeeri mu nsonga ezikwatagana ku nkomerero (Daniyeeri 10:14; 11:41; Okubikkulirwa 11:8).
Bwetumala okutegera obubonero buno, tusobola okuba abagezi era tusobola okuba n’okumanya biki ebisubirwa mu naku zenkomerero. Tetusobola wabula kuvuunula bubonero buno okutegeeza nti enkomerero esembedde. Katonda atuwadde buli kyetwetaaga okusobola okweteekateeka obulungi, era ekyo kyetuyitiddwa okukola n’okubeera.
English
Bubonero kki obulaga enkomerero?