settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku bufumbo?

Okuddamu


Bayibuli eyogera kki ku bufumbo?

Okuddamu:

Bayibuli eraga okutondebwa kw’obufumbo mu Oluberyeberye 2:23-24: “Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.” Katonda yatonda omusajja olwo nalyoka atonda omukazi okumuyamba. Mu Bayibuli, obufumbo “kutereeza” kwa Katonda kubanga “ssi kirungi omusajja okuba yekka” (Oluberyeberye 2:18).

Nga Bayibuli enyonyola obufumbo obwasooka, ekozesa ekigambo “omuyambi”ng’eyogera ku Kaawa (Oluberyeberye 2:20). “Okuyamba” mu buufu buno kitegeeza “okwetoloola, okuyamba, okukuuma.” Katonda yatonda Kaawa okutambulira wamu ne Adamu ng’ekitundu kye okusobola okuba omuyambi we. Bayibuli egamba nti obufumbo buletera omusajja n’omukazi okuba “omubiri gumu.” Obumu buno bulabisibwa okusingira ddala abafumbo bwe begatta mu kikolwa ky’okukola omukwano. Endagaano empya agatta okulabula ku nsonga z’obumu buno: “obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.” (Matayo 19:6).

Ebaluwa eziwerako eza Pawulo zogera ku bufumbo era ziraga engeri abakkiriza gyebalina okutambuzaamu obufumbo. Ekyawandiikibwa ekimu kye kya Abaefeeso 5:22-23. Bwewekenenya ekyawandiikibwa kino olaba amazima agakwata ku kki Bayibuli kyeyita obufumbo.

Bayibuli, mu Abaefeeso 5, mu bufumbo obulungi mulimu obuvunanyizibwa bw’omukazi era n’obw’omusajja bwebalina okutuukiriza okusobola okuba n’obufumbo obulungi. “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini.”(Abaefeeso 5:22-23). “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;”(Abaefeeso 5:25). “Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka: kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa, agujjaanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;”(Abaefeeso 5:28-29). “Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.”(Abaefeeso 5:31).

Omwami n’omukyala abakkiriza mu Yesu bebakola obufumbo Katonda bweyateekateeka okusinziira mu Bayibuli, era bwebuvaamu obufumbo obulungi. Obufumbo obusinziira ku Bayibuli buteeka Kristu okuba omutwe gw’omwami n’omusajja. Obufumbo okusinziira ku Bayibuli bulimu obumu wakati w’omusajja n’omukazi era nga ekyo kiba kifanaanyi ky’obumu bwa Kristu n’Ekanisa.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku bufumbo?
© Copyright Got Questions Ministries