Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku bufumbo bw’abantu ab’ekikula ekimu oba obw’ebisiyaga?
Okuddamu
Bayibuli eyogera kki ku bufumbo bw’abantu ab’ekikula ekimu oba obw’ebisiyaga?
Okuddamu:
Newankubadde nga Bayibuli eyogera era enyonyola ku buli bw’ebisiyaga wabula teyogera ku bufumbo bw’ebisiyaga oba obw’abantu ab’ekikula ekimu. Kyeraga bulungi wabula nti Bayibuli ewakanya obuli bw’ebisiyaga kubanga kikolwa si kyabutonde, mpisa nkyamu era kibi. Abaleevi 18:22 eraga okulya ebisiyaga okuba eky’omuzizo era ekikolwa ekikyamu ennyo. Abaruumi 1:26-26 eraga okwagala okulya ebisiyaga wamu n’ebikolwa mu kiti ekyo okuba “eby’ensonyi” era ekitali “kya butonde” 1 Abakkolinso 6:9 eraga abali b’ebisiyaga okuba “abakola ekivve” era tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba okulya ebisiyaga kugaanibwa Bayibuli, kitegeeza nti bali b’ebisiyaga bwe bewasa tekuba kwagala kwa Katonda era mu butuufu kiba kibi.
Buli Bayibuli bweyogera ku bufumbo, eyogera ku kugattibwa kw’omukazi wamu n’omusajja. Bayibuli wesooka okw’ogera ku bufumbo, mu Oluberyerye 2:24, ebwogerako mu ngeri nti omusajja ava ewa bazadde be neyegatta ne mukazi we. Mu byawandiikibwa ebiraga ebiragiro ebikwata ku bufumbo, nga 1 Abakkolinso 7:2-16 n’Abaefeeso 5:23-33, Bayibuli eraga nti obufumbo buli wakati w’omusajja n’omukazi. Okusinziira ku Bayibuli, obufumbo bwalubereera era buli wakati w’omusajja n’omukazi, n’ekigendererwa oky’okuzimba amaka era okuteekawo embeera entuufu ey’amaka ago.
Entegeera ya Bayibuli ey’obufumbo okuba okugatibwa kw’omukazi wamu n’omusajja kusangibwa mu buli mulembe mu byafaayo by’ensi. Ebyafaayo n’olwekyo biwakanya obufumbo bw’ebisiyaga. Essomo erikwata ku ntegeera n’endowooza z’abantu mu biseera bino likakasa nti abasajja n’abakazi bakolebwa okusinzira ku ndowooza zabwe okutambulira awamu buli omu nga kitundu ku munne. Bwetuda ku ludda lwa famire, abasoma endowooza z’abantu bawakiriza nti okuggata omukazi wamu n’omusajja y’embeera entuufu esobola okuyamba okukuza abaana abakuziddwa obulungi. N’olwekyo, essomo erikwata ku ntegeera n’endowooza z’abantu nalyo liwakanya obufumbo bwabali b’ebisiyaga.. Okusinziira ku nfanaana y’ebitundu by’ekyama eby’obutonde bw’omukazi n’omusajja, batondebwa okukolera awamu mu nsonga z’omukwano. Ensonga “y’obutonde” y’okwenyigira mu kwegatta mu mukwano ya kuzaala baana, era omukazi n’omusajja bokka nga benyigidde mu mukwaano, bebasobola okutuukiriza ensonga eno. Olw’ensonga eno, obutonde buwakanya obufumbo bw’ebisiyaga. N’olwekyo, bweba nga Bayibuli, ensonga ezikwata ku ndowooza z’abantu, obutonde, byonna biwagira bufumbo wakati w’omusajja n’omukazi bwokka, — lwaki kaakano waliwo okusika omuguwa lero? Lwaki abawaanya obufumbo bwabali b’ebisiyaga batwalibwa okuba abantu abalina obukyaayi era abatakkiriza ababoola, n’ebwebawakanya mu ngeri ewa ekitiibwa abali b’ebisiyaga? Lwaki ekisinde ky’eddembe ly’abali b’ebisiyaga kisindikiriza obufumbo bw’abali b’ebisiyaga, oba abantu ab’ekikula ekimu newankubadde nga abantu bangi bannadiini nabatali bannadiini, bawagira abali b’ebisiyaga okuba n’eddembe ly’erimu n’abatali mu ngeri y’omukago ogwawamu?
Okyokuddamu, okusinziira ku Bayibuli kuli nti buli muntu amanyi ebisiyaga bikyamu era si bya butonde. Abaruumi 1:18-32 egamba nti Katonda eletedde amazima okuba ag’olwatu era amangu okutegeera. Naye amazima gawanyisibwa n’obulimba. Obulimba ne busaasanyizibwa awo amazima ne gasindikibwa emabega. Engeri emu abantu gyebebalamu amazima oba gyebasindiziriza amazima amabega kwefuula ebisiyaga okuba ekintu ekyabulijjo era nebalinyirira ababiwakanya. Engeri gyebakikola kwekuteeka obufumbo bw’ebisiyaga mu kigera kyekimu n’obufumbo obumanyiddwa obulimu omukazi n’omusajja..
Okukkiriza obufumbo bw’ebisiyaga kuba kukkiriza bisiyaga, ekintu Bayibuli kyeyita ekibi(sin) emirundi gyonna gyekyogerako. Abakristaayo balina okuyimirira nebanywera mu kuwakanya ebisiyaga. Ekirala waliwo ensonga nyingi ez’amannyi eziwakanya obufumbo bw’ebisiyaga oba obw’abantu ab’ekula ekimu okuva ewalala ewatali mu bayibuli. Omuntu talina kuba mubuuliza wa njiri okutegeera nti obufumbo bulina kuba wakati wa mukazi na musajja.
Okusinziira ku Bayibuli, obufumbo bwatandikibwa Katonda era nga bulina okuba wakati w’omukazi n’omusajja (Oluberyeberye2:21; Matayo 19:4-6). Obufumbo bw’ebisiyaga oba obw’abantu ab’ekikula ekimu kuba kukyamya bufumbo obwatandakirwa Katonda era kiba kibi(sin). Nga abakristaayo,tetukkiriza era tetuwagira kibi oba okukiyisaako amaaso. Wabula tugabana okwagala kwa Katonda era netukola nga Abawereza abatabagganyi (2 Abakkolinso 5:18). Tusonga eri okusonyiwa kw’ebibi okuli eri buli muntu yenna eyenenya , nga kwekuli n’abali b’ebisiyaga, okusonyiwa okuli mu Kristu Yesu. Twogera amazima mu kwagala (Abaefeeso 4:15) era netulwanirira amazima mu “mubwetowaze n’okwesaamu ekitiibwa” (1 Petero 3:15).
English
Bayibuli eyogera kki ku bufumbo bw’abantu ab’ekikula ekimu oba obw’ebisiyaga?