Ekibuuzo
Biki ebigenda okutuukawo ku nkomerero okusinziira ku bunnabbi obw’enkomerero?
Okuddamu
Bayibuli elina bingi byeyogera ku nkomerero. Kyenkana buli kya bayibuli kilina obunnabi obukwata ku nkomerero. Okukwata obunnabi buno okubutegeka si kintu kyangu. Wamanga by’ebyo mu bimpimpi Bayibuli byeyogera ebinatuukawo ku nkomerero.
Kristu aliggya abalokole bonna okuva ku nsi ekimanyikiddwa nga Okukwakkulibwa( 1 Abassesalonnika 4:13-18; 1 Abakkolinso 15:51-54). Ku ntebe Kristu kwatuula okulamula, abakkiriza abamu balisasulibwa olw’emirimu emirungi n’okuweereza obulungi kwebakola nga bakyali ku nsi abalala tebagya kusimiibwa kubanga tebaweereza era tebagoonda, wabula tebagya kufiirwa bulamu butaggwaawo. (1 Abakkolinso 3:11-15; 2 Abakkolinso 5:10).
Omulabe wa Kristu (Ensolo) elitwala obufuzi era elikola endagaano ne Isirayeeri okumala emyaka musaanvu (Daniyeeri 9:27). Ekiseera kino kiyitibwa ekiseera “oky’okuboonaboona.” Mu kiseera kino, walibeerawo entalo, enjala, endwaade zi nnamutta, n’ebigwa bitalaze okuva mu butonde. Katonda aliyiwa obusungu eri ekibi, n’obubi. Akaseera kano kalimu okulabisibwa kwabasajja bana abebagadde embalaasi ab’akaseera akakatyabaga, obubonero omusanvu, ekondeere, n’ekibya eky’emisango.
Mu massekati g’emyaka omusanvu, omulabe wa Kristo alimenya endagaano ye ne Isirayeeri era alisikuula olutalo ku Isirayeeri. Omulabe wa Kristu alikola “eky'omuzizo ekizikiriza”era aliteekawo ekifanaanyi kye okusinzibwa mu Yekaalu mu Yelusalemi eliba ediddwamu okuzimbibwa (Daniyeeri 9:27; 2 Abassekalonnika 2:3-10). Ekitundu ekyokubiri kimanyikiddwa nga “ak’okubonaabona kuli okungi” (Okubikkulirwa 7:14) era “ kiseera Yakobo mw'alabira ennaku” (Yeremiya 30:7).
Ku nkomerero ey’emyaka omusanvu, egy’okubonaboona, omulabe wa Kristu alilumba Yerusalemi olulumba olusembayo, mu lutalo lwa Amagedoni. Yesu Kristu alidda era alisanyawo Omulabe wa Kristu n’amajeege, era alibasuula mu nyanja eyaka n’omuliro ( Okubikkulirwa 19:11-21). Kristu alisibira sitaani mu bunnya obuwanvu obutakoma okumala emyaka 1000era elifuga obwakaba bwe obw’okunsi okumala emyaka egyo olukumi (Okubikkulirwa 20:1-6).
Ku nkomerero y’akaseera k’emyaka olukumi, Sitaano alisumululwa, era aliwangula neera, olwo alyoke asulibwe mu nyanja eyaka n’omuliro. ( Okubikkulirwa 20: 7-10) emirembe n’emirembe. Kristu awo alisalira omusango abo bona abatakkiriza (Okubikkulirwa 20: 10-15) ku namulondo enjeru ey’omusango era olwo alyoke abasuule bonna mu nyanja eyaka n’omuliro. Kristu olwo alyoke ayanjule ensi ne Yerusalemi empya — abakkiriza gyebanabeera emirembe gyona. Tewalibeera kibi, naku wadde okufa (Okubikkulirwa 21:22).
English
Biki ebigenda okutuukawo ku nkomerero okusinziira ku bunnabbi obw’enkomerero?