Ekibuuzo
Obutakkiriza mu kubaawo kwa Katond kye kki?
Okuddamu
Obutakkiriza mu kubaawo kwa Katonda tekitandise kakati Zabbuli 14:1 yawandiikibwa mu myaka nga 1000 nga Yesu tanazaalibwa eyogera ku butakkiriza mu Katonda. “Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda. ” Okunonyereza okuliwo kugamba nti ebitundu kumi ku kikumi ku bantu abali munsi sibakkiriza nti waliwo Katonda. N’olwekyo, lwaki abantu beyongerayongera obutakkirza? Obutakkiriza ddala kirimu eggumba nga abatakkiriza bwebagamba?
Obutakkiriza lwaki webuli? Lwaki Katonda teyeraga bwerazi eri bantu, okubalaga nti waali? Abantu balowooza nti singa Katonda amala nalabika, abantu bonna baba bagenda kumukkiriza! Ekizibu kiri nti ssi kwekwagala kwa Katonda okumattiza abantu nti gyali. Kwagala kwa Katonda bantu okumukkiriza olw’okukkiriza (2 Peter 3:9) era nebakkiriza ekirabo kye eky’obulukozi (Yokaana 3:16). Katonda yalaga okubaawo kwe emirundi mingi mu ndagaano enkadde (Oluberyeberye 6:9; Okuva 14:21:22; I Bassekabaka 18:19-31). Olowooza abantu bakkiriza nti Katonda gyaali? Ye!. Olowooza abantu bakyuka okuva mu bibi byabwe okudda eri Katonda? Nedda! Omuntu bwaba teyetegese kukkiriza Katonda okuyita mu Kikkiriza, kitegeeza nto omuntu oyo teyetegese kukkiriza Yesu ng’omulokozi we okuyita mu kukkiriza (Abaefeeso 2:8-9). Okwagala kwa Katonda kuli nti abantu bakyuke bakkiriza mu Kristo bafuuke bakristaayo.
Bayibuli etugamba nti okubaawo kwa Katonda kulina kukkirizibwa okuyita mu kukkiriza. Baebbulaniya 11:6 egamba, “era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.” Bayibuli etujjukiza nti tulina omukisa bwe tukirizza era ne twesiga Mukama mu kukiriza: “Awo Yesu nabagamba nti,’kubanga mundabye, mukirizza; balina omukisa abo abatalabye naye ne bakirizza”’ (Yokaana 20:29)
Okubaawo kwa Katonda kulina kukkirizibwa okuyita mu kukkiriza wabula kino tekitegeeza nti okukkiriza mu Katonda tekwetaaga magezi ga buntu. Waliwo ebintu bingi eirage okubaawo kwa Katonda. Bayibuli etusomesa nti okubawo kwa Katonda kulwatu mu nsi (Zabbuli 19:1-4), mu bitonde (Abaruumi 1:18-19), era ne mu miitma gyaffe (Omubuulizi 3:11). Ebyo byonna nga byogeddwa, okubaawo kwa Katonda tekusobola kukakasibwa wabula kulina kukkirizibwa okuyita mu kukkiriza.
Mu kaseera kekamu, kitwala okukkiriza kwekumu okukiriza nti Katonda taliyo. Okwogera nti Katonda taliyo nti “Katonda taliyo” kwekugamba nti omanyi mu mazima ebintu byonna ebirina okumanyibwa era nti obadde buli wamu wonna mu nsi yonna era nti olabye ebintu byonna ebisobola okulabibwa. Amazima tewali muntu agama nti Katonda taliyo asobola kukkiriza kintu ekyo. Wabula, ekyo kyebategeeza bwebaba nga bawakanya okubaawo kwa Katonda. Abatakkiriza mu kubaawo kwa Katonda okugeza tebasobola kukkiriza nti Katonda asobola okuba mu njuba wakati oba wansi webire bya senŋŋendo Kibuuka (Jupiter) , oba mu Nabire(nebula) eli ewala enyo. Olw’okuba nti ebifo ebyo biri wala nnyo era nga tetusobola kubiraba. Tekisoboka kukkakasibwa nti Katonda taliyo. Kitwala ekigera ky’ekimu okukkiriza mu Katonda ng’obutakkiriza mu kubawo kwa Katonda.
Obutakiriza mu kubaawo kwa Katonda tekusobola kukakasibwa, era okubaawo kwa Katonda kulina kukkirizibwa okuyita mu kukkiriza. Amazima gali nti, Abakristaayo bakkiriza nti Katonda gyali era bakkiriza nti okubaawo kwa kukkirizibwa kuyita mu kukkiriza. Mu kaseera ke kamu, tugaana endowooza egamba okukkiriza mu Katonda tekwetaaga magezi ga buntu. Tukkiriza nti okubaawo kwa Katonda kusobola okulabibwa, okuwulirwa era nga kwetagiisa olwa sayansi n’empisa z’abantu. “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye. Omusana gugamba ebigambo omusana, 'ekiro kiraga amagezi ekiro. Siwali bigambo newakubadde olulimi; Eddoboozi lyabyo teriwulikika. Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Abiteekeddemu enjuba eweema,”
English
Obutakkiriza mu kubaawo kwa Katond kye kki?