Ekibuuzo
Bayibuli eyoera kki ku kuboola amawanga?
Okuddamu
Kyetulina okusooka okumanya kiri nti waliwo eggwanga limu lyokka—eggwanga ly’abantu. Abeeru, Abafirika, Ab’asiya, Abayindi, Abawalabu, Abayudaaya ssi mawanga ganjawulo. Wabula, bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga ly’abantu. Abantu bonna bafaanagana mu ndabika (wabula balina enjawulo entonotono). Ekisingira ddala obukulu kiri nti, abantu bonna batondebwa mu kifaananyi era mu ngeri ya Katonda(Oluberyeberye 1:26-27). Katonda yayagala nnyo ensi okutuuka okuwaayo Yesu okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe (Yokaana 3:16). “Ensi” ng’etegeeza abantu bonna abali abali mu bifo ebyenjawulo.
Katonda talaga kyekubiira oba okusosola (Emateeka 10:17; Ebikolwa 10:34; Abaruumi 2:11; Abaefeeso 6:9), era nafe tetulina kulaga kwekubiira oba okwesosola. Yakobo 2:4 anyonyola abo abawukanya oba ababoola okuba “abasazi b'ensonga ab'ebirowoozo ebibi.” Wabula tulina okwagala balirwana baffe nga bweteyagala (Yakobo 2:8). Mu ndagaano enkadde, Katonda yayawula abantu mu biwayi bibiri “eby’amawanga.” Abayudaaya nebanamawanga. Ekigendererwa kya Katonda kyali ky’abayudaaya okuba obwakabaka obwa bakabona, era nga balina okuwereeza eri banamawanga. Wabula, Abayudaaya bamalira mu malala era nga basosola Banamawanga. Yesu Kristo yateeka ekkomo ku nsong’eno ng’amenya ebisenge by’obulabe byonna ebyali byawuula amawanga (Abaefeeso 2:14). Buli kusosola mu mawanga, okwawula abantu kwona kuba kuvoola mulimu Kristo gweyakola ku musalaba.
Yesu atulagira okwagalana nga bweyatwagala (Yokaana 13:34). Bwaba Katonda talina kyekubiira era ng’atwagala awatali kusosola, naffe tulina okwagalana mu ngeri yeemu. Yesu asomesa mu Matayo 25 nti buli kyetukola eri abasinga obuto ku baganda be, tuba tukikoledde yye. Bwetuyisaamu abantu amaaso oba bwetulaga abantu obukyayi, tuba tubonyabonyeza oyo eyatondebwa mu Kifaananyi kya Kristo. Tuba tulumya oyo Katonda Katonda gwayagala era Kristo gweyafiirira.
Okwawula mu mawanga, mu mitendera era mu kigera eky’enjawulo, kubadde kirwadde eri omwana w’omuntu okumala emyaka nkumi na nkumi. Kino tekilina kuba eri abaluganda. Abantu ababoledwa era abayiganyiziddwa olw’eggwanga lyebavaamu betaaga okusonyiwa. Abaefeeso 4:32 egamba, “ era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.” Baawulayawula mu mawanga bayinza okuba nga tebasaana kisonyiwo kyo, wabula naffe twali teyusaana kisonyiwo kya Katonda. Abo ababoola, abawuula oba abayiganya abantu okusinziira ku Mawanga betaaga okweneenya. “… mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.”(Abaruumi 6:13). Okusaba kwange kwe kw’Abaggatiya 3:28 okutuukirira mu bujjuvu. “Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
English
Bayibuli eyoera kki ku kuboola amawanga?