Ekibuuzo
Okukula mu Mwoyo kyeki?
Okuddamu
Okukula mu Mwoyo kwekwongera okufaanana nga Yesu Kristu. Bwetuteeka okukkiriza kwaffe mu Yesu, Omwoyo Mutukuvu atandika omulimu ogw’okutufuula nga Kristu, ng’atufuula okufaanana ekifaananyi kye. Okukula mu Mwoyo kwogerwako mu 2 Petero 1:3-8, ewatugamba nti kulw’amanyi ga Katonda tulina “ byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda,” byetwetaaga okutambulira mu bulamu obw’obwa Katonda era nga kyekigendererwa ky’okukula mu Mwoyo. Wetegereza nti ebyo byetwetaaga biva mu “kutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo,” era nga kyekisumuluzo oky’okufuna buli kimu kyonna kyetaaga. Okumutegeerera ddala kiva mu kigambi ekyatuweebwa olw’okuzimbibwa era Olw’okukula.
Waliwo enkalala bbiri mu Baggalatiya 5:19-23. Enyiriri 19-21 ziraga “ebikolwa by’omubiri.” Bino byebintu ebyali bifuga obulamu bwaffe nga tetunaba kuja eri Kristu olw’okulokolebwa. Ebikolwa by’omubiri byebikolwa byetulina okwenenya, era wamu n’amanyi ga Katonda, byetulina okuwangula. Nga tweyongera okukula mu Mwoyo, “ebikolwa byomubiri” byeyongera okukendeera mu bulamu bwaffe. Olukalala olw’okubiri lwelukalala olulaga “ebibala byomyoyo” (22-23). Bino bilina okulabibwa mu bulamu bwaffe olw’okuba nti kati twalokolebwa era mu Yesu Kristu. Okukula mu mwoyo kulabibwa olw’ebibala by’omwoyo ebyongera okulabibwa mu bulamu bw’omukkiriza.
Okukyuusibwa okuja olw’okulokolebwa bwekutuukawo, okukula mu Mwoyo nakwo nga kutandika. Omwoyo Mutukuvu aja natuula muffe (Yokaana 14:16-17). Tuba bitonde bigya mu Kristu (2 Abakkolinso 5:17). Omuntu omukadde atandika okuggwaawo olwo embala empya eya Kristu nejja. (Abaruumi 6-7). Okukula mu Mwoyo kumala ebiseera byonna byetumala nga tukyali balamu era kwesigamye ku ngeri gyetusoma ekigambo kya Katonda (2 Timoseewo 3:16-17) era n’engeri gyetutambulira mu Mwoyo (Abaggalatiya 5:16-26). Nga tunonya okukula mu Mwoyo, tulina okusaba Katonda amagezi tusobole okutegeera bintu Katonda byagala tukuleme. Tusobola okusaba Katonda okwongera ku kukkiriza n’okwongera okumutegeera. Katonda ayagala tukule mu Mwoyo era Yatuwa byonna byetwetaaga okukula mu Mwoyo. Okuyita mu manyi g’Omwoyo Omutukuvu tusobola okuwangula ekibi era mpola mpola tusobola okufaanagana ng’omulokozi waffe, Mukama waffe Yesu Kristu.
English
Okukula mu Mwoyo kyeki?