Ekibuuzo
Okudda kwa Yesu ng’emyaka olukumi ogy’okufuga kwe teginatuuka kwekuliwa?
Okuddamu
Okudda kwa Yesu ng’emya olukumi teginatuuka y’enzowooza egamba nti okudaa kwa Yesu kulituuka ng’obwakabaka obw’ekyasa tebunatuuka era obwakabaka obwo giriba emyaka lukumi egy’okufuga kwa Yesu ku nsi. Okusobola okutegeera era okuvuunula ebyawandiikibwa ebyogera ku biseera eby’enkomerero, waliwo ebintu bibiri ebirina okutegeerebwa obulungi: enkola entuufu eyokuvuunula ebyawandiikibwa nenjawulo wakati wa Isirayeeri(abayudaaya) n’ekanisa (omubiri gw’abakkiriza mu Yesu Kristu).
Okusookera ddala, engeri entuufu eyokuvuunula ebyandiikibwa yetaaga ebywandiikibwa okuvuunulwa wamu(si kujayo lunyiriri lumu n’oluvuunula ku lwalwo). Kitegeeza nti ebyawandiikibwa bilina okuvuunulwa mu ngeri yemu bananyini bubaka gyebabuvuunula, abo abawandikirwako, bebaali bawndiikidde n’ebalala bonna mu buufu bwebumu. Kikulu okumanya baani omuwandiisi beyali awandiikidde, n’ebyafaayo byekyawandiikibwa omuntu kyayagala okuvuunula. Kikulu okumanya nti ebyawandiikibwa bivuunula byawandiikibwa. Kitegeeza nti ekyawandiikibwa kyogera ebiseera ebisinga ku nsonga eyayogerwako mu kyawandiikibwa ekirala. Kikulu okuvuunula ebyawandiikibwa nga biri wamu nebirala okusinga okutolamu olunyiriri lumu oba biri.
Ekisembayo, era nga ky’ekisinga okuba ekikulu, ebyawandiikibwa birina okutwalibwa mu ngeri eyabulijo, emanyikiddwa, era namakulu agokungulu okugyako ng’ekyawandiikibwa kiraga nti kilina amakulu agakwekeddwa. Amazima ag’okungulu tegagyawo kuba nti ekyawandiikibwa kilina amakulu amalala agomunda. Wabula kiyamba omuntu obutasoma amakulu agakwekeddwa ate nga amakulu g’ekyawandiikibwa tegakwekeddwa. Kikulu obutanoonya makulu ga munda okugyako nga kituufu eri amakulu agawamu ag’ekyawandiikibwa. Okufuula ekyawandiikibwa eky’Omwoyo ennyo kikyamu nnyo kubanga kigyawo obusobozi bwonna obw’okuvuunula ekyawandiikibwa mu butuufu eri oyo asoma ekyawandiikibwa. Awo kitegeeza nti bwokola bwotyo, tosobola kufuna amakulu matuufu kubanga buli omu aba namakulu ge okusinziira kwebyo ye byategedde. 2 Peteero 1:20-21 etujukiza nti, “ nga mumaze okutegeera kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekitegeeza kukoma kw'oyo yekka. Kubanga siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.”
Bwokozesa enkola eyo ey’okuvuunula Bayibuli, okitegeera nti Isirayeeri (abaana ba Ibulayimu abakunsi) n’ekanisa (Abakiriza bonna ab’omundagaano empya) biba biwayi bibiri ebyenjawulo. Kikulu okutegeera nti Isirayeeri n’ekanisa byanjawulo kubanga kino byekitategerebwa bulungi, ebyawandiikibwa tebisobola kuvuunulwa byonna. Ebwawandiikibwa ebisinga okukyamizibwa mu kuvuunulibwa byewandiikibwa ebyogera ku bisuubizo Katonda byeyakola eri Isirayeeri( ebyatuukirizibwa n’ebyo ebitanatuukirizibwa). Ebisuubizo ebyo tebilina kukozesebwa ku Kanisa. Jukula amakulu agawamu gegasobola okututegeeza obunnabbi ky’ebutegeeza era gatusongera ku makulu agasinga okuba amatuufu.
N’ensoga ezo nga zitegerekese bulungi, tusobola kakano okutuunulira ebyawandiikibwa ebilina endowooza egamba nti, “Yesu alidda ng’emyaka olukumi ogy’okufuga kwe teginatuuka” Oluberyeberye 12:1-3: “awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.”
Katonda asuubiza Ibulayimu ebitu bisatu: Ibulayimu alibeera nabaana bangi, ensi eno elifuna era elituula mu nsi era n’omukisa ogw’ensi yonna guligya eri abantu okuyita mu Ibulayimu (Abayudaaya). Mu Oluberyeberye 15: 9-17, Katonda akola akkatiiriza endagaano ye ne Ibulayimu. Katonda akola kino nga yewa obuvunanyizibwa bwonna obw’endagaano. Kitegeeza nto tewali kintu kyonna Ibulayimu kyakola oba kyalemererwa kukola ekisoboa okulemesa endagaano eno okutuukirizibwa. Era mu kyawandiikibwa kino, ensalosalo zikubibwa ez’ensi Abayudaaya gyebatuulamu. Okumanya ensalosalo ezo mu biwanvu, soma Ekyamateeka 34, Ebyawandiikibwa ekirala ebyogera ku kisubizo eky’ensi bye, Ekyamateeka 30: 3-5, Ezekyeeri 20: 42-44.
Mu 2 Samwiri 7:10-17, tulaba ekisuubizo nga kikolebwa Katonda eri Kabaka Dawudi. Wano Katonda asuubiza Dawudi nti aliba n’abaana, era okuva mu baana abo Katonda alisimba obwakaba obw’emirembe gyonna. Kino kitegeeza obufuzzi bwa Kristu obw’ekyasa era obw’emirembe gyonna. Kikulu okumanya nti ekisuubizo kino kyasuubizibwa nga bwekiri era tekinatuukiribwa. Abamu bakiriza nti obufuzi bwa Sulemani bwatuukiriza obunnabi, wabula waliwo ekikyamu mu nzivuunula. Ensi Sulemani gyeyafuga terimu baana ba Isirayeeri leero. Jukira nti Katonda yasuubiza Ibulayimu nti abaana be balijjula ensi era balijirya emirembe n’emirembe. Era laba 2 Samwiri 7 egamba nti Katonda alisimba Kabaka alifuga emirembe n’emirembe. Sulemani yali tasobola kutuukiriza kisuubizo ekya Dawudi. N’olw’ekyo, kino ky’ekisubizi ekitanatuukirizibwa.
Kakano nga tumaze okutegeera ebyo wagulu, kebera ekyawandiiibwa. Okubikkulirwa 20:1-7. Emyaka 1000 ejogerwako mu kyawandiikibwa kino gifaanagana n’emyaka 1000 Kristu gyalifuga ku nsi nga Kabaka. Jukira ekisuubizo ekyaweebwa Dawudi ekyali kyogera ku mukulembeze kyogera ku mukulembeze era tekinatuukirira. Okuda kwa Yesu ng’emyaka olukumi era ekyawandiikibwa kino ng’ekyogera ku kukutuukirizibwa kw’ekisuubizo nga Kristu ali ku namulondo afuga. Katonda yakola endagaano ezitaliko bukwakulizo eri Dawudi ne Ibulayimu. Tewali kisubizo kyonna ku bino kitukkiridde. Okufuga kwa Yesu mu buliwo ku nsi y’engeri yokka esobola okutuukiriza endagaano nga Katonda bweyasuubiza.
Okukozesa enkola ey’okuvunula ebyawandikibwa ng’otunuulira amakulu ag’okungulu ereta obutundutundu obwakakunizo okufunibwa. Ebunabbi bwona obukwata ku Yesu mu Ndagaano enkadde bwatuukirizibwa nga bwebwalagulwa. N’olw’ekyo, tulina okusuubira nti obunabi bwona obukwata ku kudda kwa Yesu okutuukirizibwa mu buliwo. Ensomesa oy’okudda kwa Yesu ng’obwakabaka obw’ekyasa tebunaba y’engeri yokka ekkiriziganya n’okuvuunula endagaano Katonda zeyakola n’obunabbi obw’enkomerero namakulu agasoka.
English
Okudda kwa Yesu ng’emyaka olukumi ogy’okufuga kwe teginatuuka kwekuliwa?