Ekibuuzo
Okudda kwa Yesu kutegeeza kki?
Okuddamu
Okudda kwa Yesu ly’esuubi ly’abakkiriza nti Katonda afuga buli kimu era mwesiga eri ebisuubizo bye n’obunnabbi ouli mu Kigambo kye. Mu kuja kwa Yesu okwasooka, Yesu yajja nga omwana mu kibaya mu Beselekemu, era nga bwekyalagulwa. Yesu yatukiriza obunnabi bungi obw’omununuzi mu kaseera k’okuzaalibwa kwe, mu bulamu bwe, mu buwereeza bwe, mu kufa kwe n’okuzuukira. Wabula, obunnabbi obumu obukwata ku mununuzi Yesu bwatanatukiriza. Okukomawo kwa Yesu kuliba kudda kutuukiriza bunnabbi obwasigala. Mu kuja kwe okwasooka, Yesu yali muddu eyaboonaboona. Mu kuja kwe okw’okubiri, Yesu aliba Kabaka eyawangula. Mu kuja kwe okwasooka, Yesu yajjira mu ngeri ey’obwetowaze ng’omuntu owa wansi. Mu kuja kwe okw’okubiri, Yesu aliggya n’amagye ag’Egulu nga gali wamu naye.
Ba nabbi b’Endagaano enkadde tebalaga bulungi njawulo wakati w’okuja okusooka n’okw’okubiri. Kino kirabibwa mu Isaaya 7:14, 9: 6-7 ne Zekkaliya 14:4. Obunabbi olw’okubanga bulinga obulaga abantu ababiri, Abayudaaya bangi ebeetegereza bayibuli bakkiriza nti waliwo Omununuzi aliboonabooba n’omununuzi aliba n’obuwanguzi. Kyebalemererwa okutegeera kiri nti waliwo omununuzi omu era ng’alituukiriza emirimu gyombi. Yesu yatukiriza omulimu gw’omuddu eyaboonaboona(Isaaya 53) mu kuka kwe okwasooka. Yesu alituukiriza omulimu gw’omunuzi wa Isirayeeri era Kabaka mu kuja kwe okw’okubiri. Zekkaliya 12:10 n’Okubikkulirwa 1:7, ng’enyonyola okudda kwa Yesu, eraga nga Yesu afumitibwa nga bwekyali ku musaalaba. Isirayeeri, n’ensi yonna, balisinda olw’obutakkiriza Mununu bweyaja omulundi ogwasooka.
Yesu bwe yalinnya okudda mu gulu, bamalayika bagamba abatume, “ abaayogera nti Abantu b’e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”(Ebikolwa 1:11). Zekkaliya 14;4 eraga okifo awanabeera okudda kwa Yesu okuba Olusozi lw’Emizayituuni. Matayo 24:30 egamba, “awo lwe kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.” Tito 2:13 enyonyola okudda kwa Yesu okuba “okulabika kw'ekitiibwa”
Okudda kwa Yesu kwogerwako mu biwanvuwanvu mu Kubbikulirwa 19:11-16, “Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka. Era ng'ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna. Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.
English
Okudda kwa Yesu kutegeeza kki?