Ekibuuzo
Ddala Bayibuli eraga enfa y’abatume bonna? Abatume bafa batya.?
Okuddamu
Omutume omu yekka Bayibuli gweyogerako ku nfa ye ye Yakobo. (Ebikolwa:12:2) Kabaka Kerode yalagira Yakobo okutibwa n’ekitala, ekitegeeza nti yatemebwako omutwe. Enfa y’abatume abalala eyogerwako mu byafaayo bikwataganyizibwa n’enkola z’ekanisa n’olwekyo tetulina kuziteekako birowoozo. Enkola esinga okuteekebwako essira ekwatagana ku kufa kw’abatume kwe kua nti Petero yakomererwa nga yewunzise ku musalaba ogufaanana “X” mu Rumi okutuukiriza obunnbi bwa Yesu mu Yokaana 21:18. Wamanga z’ezimu ku byafaayo ku kufa kw’Abatume ebimanyikiddwa ennyo.
Matayo yattibwa olw’okukkiriza mu Esiyopiya, era yafa kiwundu kya kitala Yokaana naye yabonyabonyezebwa ng’omujulirwa nga asulibwa mu butto atokota mu kaseera ak’okuyigganyizibwa kw’Abakristaayo mu Ruumi. Wabula yataasibwa okufa mu ngeri y’ekyamagero. Yokaana awo nasindikibwa mu birombe mu Komera ely’ekizinga Patimoosi. Yawndiika ekitabo eky’obunnabi eky’Okubikkulirwa ng’ali ku Kizinga Patimoosi. Omutume Yokaana yayimbulwa nazibwa mu Butuluuki (Turkey olwaleero). Yafa ng’akaddiye era ye mutume yekka eyafa mu ddembe.
Yakobo, muganda wa Yesu (teyali mutume) yali mukadde mu Kanisa mu Yerusalemi. Yasuulibwa okuva munaala omuwanvu oguli maserengeta g’obuvanjuba bwa Yekaalu (obuwanvu bwa fuuti nga kikumi) bweyagaana okwegana okukkiriza kwe mu Yesu. Bwebakizuula nti yali awonye okufa, abalabe be bakuba Yakobo okutuusa bwe yafa. Kino ekifo kirowozebwa okuba ekifo ky’ekimu Sitaani weyatwala Yesu okumukema.
Batulumaayo, era eyali amanyikiddwa nga Nasanayeri ya muminsani mu Asiya. Yabuulira enjiri mu kifo ekimnayikiddwa leero nga Butuluuki era yattibwa olw’okubuulira enjiri mu Ameniya. Yakubibwa emiggo okutuusa lweyafa. Andereya yakomererwa ku musalaba ogwewunzise mu Buyonaani . Bweyamala okukubibwa emigo obubi ennyo abaserikale musanvu, basiba omubiri ku musalaba okwongera ku bulumi bwe. Bagoberezi be bagamba nti bwebaali bamutwaala ku musaalaba, Andereya yagugulumiza mu bigambo bino. “Nzize nga njagala era nesuunga akaseera kano. Omusaalaba gwatuukirizibwa n’omubiri gwa Kristu ogwagulengejerako” Yeyongera okubuulira enjiri eri abo abamukomere okumala ennaku biri okutuusa lweyafa. Omutume Tomasi yafumitibwa efumu mu Buyindi bweyali ku zimu ku ngendo ze okusimbayo ekanisa. Matiya, omutume eyaddirira mu kifo kya Yudda Omw’esikariyooti yakubiwa amayinja era natemebwako omutwe. Omutume Pawulo yabonyabonyezebwa era natemebwako omutwe Empura omubi eyayitibwa Nero mu Ruumi mu mwaka 67. AD. Waliwo ebyafaayo ebirala ebikwata ku batume abalala wabula kubo tewali kubyo birina bukakafu okuva mu byafaayo bukkirizibwa.
Ssi kikulu nnyo engeri abatume gyebafa. Ekikulu kiri nti bonna bali bakkiriza okufiirira enzikiriza yabwe. Singa Yesu yali teyazuukira, abayigirizwa bandikitegedde. Abantu tebasobola kufiiririra kintu kyebamanyi nti bulimba. Olw’okuba nti abatume bonna baali bewaddeyo okufa mu ngeri ey’entiisa , nga bagaana okwegaana okukkiriza kwabwe mu Kristu, bukkakafu nti baali ddala balabye okuzuukira kwa Yesu Kristu.
English
Ddala Bayibuli eraga enfa y’abatume bonna? Abatume bafa batya.?