settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku kujamu embuto?

Okuddamu


Bayibuli yeyogera butereevu ku ku nsonga y’okujamu embuto. Wabula, waliwo ensomesa eziwerako mu byawandiikibwa eziraga obulungi Katonda kyalowooza ku kujamu embuto.

Yeremiya 1:5 etugamba nti Katonda yatumanya nga tetunaba kubeera mu mbuto za ba maama baffe. Zabbuli 139: 13-16 eyogera Katonda mwenyini okwenyigira mu kutondebwa kwaffe era okukolebwa mu muto za ba maama baffe. Okuva 21:22-25 eraga ekibonerezo kyekimu — eky’okufa — eri omuntu eretera okufa kw’omwana nga ng’omuntu atemula omuntu. Etteeka n’ekibonerezo biraga bulungi nti Katonda Omwana mu lubuto okuba omuntu ng’omuntu omukulu. Eri omulokole, okujamu olubuto ssi somga ya ddembe lya mukyala okusalawo okuzaala omwana. Omwana aba amaze okubaawo era aba muntu mulamu. Okujamu olubuto eba nsonga ya bulamu oba kufa eri omuntu akoleddwa mu kifaananyi kya Katonda. (Oluberyeberye 1:26-27; 9:6)

Bayibuli eyogera kki ku kujamu embuto? Mu bimpimpi, okujamu olubuto kuba kutemula. Kuba kutta muntu Katonda gweyakola mu kifaananyi kye.

Ekintu ekizinga okukubibwako ebiroowozo ku ndowooza y’Abalokole ku kujamu embuto kiri nti, ‘Ate bwaba omukazi akwatiddwa bukwatibwa oba singa singa ga mawemukirano?” Newankubadde nga kiluma okufuna olubuto ng’okwatidwa oba okuva ku w’oluganda, okuta omwana ddala kyekiba eky’okuddamu? Ebibi ebibiri tebisobola kufuuka kituufu. Omwana azaliddwa okuyita mu mawemukirano oba mu kukwatibwa asobola okuweebwa famire esobola okumwagala. Waliwo abafumbo banji abatasobola kuzaala baana ku lwabwe, abategefu okutwala omwana ono era okumwagala okuva yonna gyaba yava. Omwana azaliddwa aba talina musango era talina kubonerezebwa olw’obubi bwa Taata we.

Kikulu era okumanya nti embuto ezijibwaamu olw’okuba omukyala yali akwatiddwa oba nga yafuna olubuto okuva mu w’oluganda ntono nnyo era kiri ekitundu kimu ku kikumi. Bino obisanga ku; (Torres and Forrest, cited by Physicians for Reproductive Choice and Health and the Alan Guttmacher Institute in An Overview of Abortion in the United States, October 2001, www.abortionfacts.com/facts/8#cite-1, accessed 9/9/21).

Ensonga endala ekozesebwa okulwanyisa Abalokole eri nti “Ate singa obulamu bwa maama buli mu mattiga?” Amazima gali nti, kintu ky’ekibuuzo ekisinga okuba ekizibu ku nsonga z’okujamu embuto. Okusooka, tulina okumanya embeera enno tetera kusangika. Dr. Landrum Shettles, omukugu mu nsonga z’okuwakisa abakyala, yawandiika “Abakyala ebitundu 1 ku kikumi bebajamu embuto okusobola okuwonya obulamu bwa maama” ” (Landrum Shettles and David Rorvik, Rites of Life, Zondervan Publishing House, 1983, p. 129). Dr. Irving Cushner, omukenkufu mu nsonga z’okuzazisa mu Somero ly’abasawo erya UCLA, bweyali mu maaso g’akakiiko akafuzi aka Amerika, yabuuzibwa emirundi emeka ku kikumi okujamu elubuto gyekutaasa obulamu bwa Maama. Yaddamu: “Mu gwanga lino, ekitundu nga kimu ku kikumi” (testimony before the Senate Judiciary Committee’s Subcommittee on the Constitution of the United States on October 14, 1981, quoted in The Village Voice, July 16, 1985).

Abasawo abalala beyongerayo bebagamba nti okujamu olubuto tekwetaagisangako kutaasa bulamu bwa maama . Abakugu abasukka mu 1000 mu nsonga z’abakyala n’ezokuzalisa wamu n’okulabirira abakyala abazadde bateeka ebinkumu byabwe ku kiwandiiko mu 2012 nga bagamba, “Nga abakugu era abanonyereza mu nsonga z’okuzaalisa n’ensonga z’abakyala, tukkikakasa nti okujamu olubuto obutereevu — nga kino kisanyawo omwana atanazaalibwa, tekiyamba kukutaasa obulamu bwa maama” (Dublin Declaration on Maternal Health, www.dublindeclaration.com, accessed 9/9/21). Era, mu mwaka 2019, Abakulu babasawo abasuka mu 30,000 bagamba nti okutta omwaka anateera okuzaalibwa mu ngeri y’okujamu olubuto tekwetaagisa kutaasa bulamu bwa maama” (www.lifenews.com/2019/03/05/30000-doctors-say-abortion-is-never-medically-necessary-to-save-a-mothers-life, accessed 9/9/21).

Eky’okubiri, tutegee nti Katonda ye Katonda w’ebyamagero. Asobola okuwonya obulamu bwa maama n’omwana we newankubadde nga Abasawo bonna tebakkiriza. Eky’okusatu, ne mu kitundu ekitono ennyo ekikolebwa okuwonya obulamu bwa maama, embuto ezisinga kwezo zisobola okuwonyezebwa okuyita mu kulongosebwa. Ensonga terabikarabika ejisaamu omwana okusoboka okuwonya obulamu bwa maama. Ekisembayo, obulamu bwa maama bwebuba nga buli mu mattiga, maama, abasawo be, taata w’omwana, oba Katonda yenyini yalina okusalawo. Omukwala yenna ayita mu kaseera akazibu ennyo alina kusaba Katonda amuwe amagezi (Yakobo 1:5) okusobola okumanya eky’okukola.

Abakyala abasinga obungi abajamu embuto leero baba tebagala mwana. Nga bwekyogeddwa wagulu, ebitundu nga bibiri ku kikumi ku mbuto ezijibwamu ziba ziva ku kukwatibwa oba okufuna oluuto okuva ku w’oluganda oba obulamu bwa maama nga buli mu mattiga. Ne mu bitundu ebibiri bino, okujamu olubuto ssi kwekulina okusooka okulowoozebwako. Obulamu bw’omuntu ali mu lubuto mwawuwendo nnyo era buli kintu kyonna ekisobola kirina okukolebwa okusobola okubutaasa.

Eri abo abajamu embuto, mujukire nti ekibi ky’okujamu olubuto kisonyiyibwa ng’ebibi ebirala byonna. Okuyita mu kukkiriza Kristu, ebibi byonna bisobola okusonyiyibwa (Yokaana 3:16; Abaruumi 8:1; Abakkolosaayi 1:4). Omukyala eyagyamu olubuto, omusajja eyawagira okujamu olubuto, n’omusawo ayali ayambye okujamu olubuto— bonna basobola okusonyibwa okuyita mu Kristu Yesu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku kujamu embuto?
© Copyright Got Questions Ministries