Ekibuuzo
Manya ntya oba ekintu kibi?
Okuddamu
Waliwo ensonga bbiri eziri mu kibuuzo kino, ebintu Bayibuli byeyogerako okuba ekibi, n’ebyo Bayibuli byetayogerako buterevu. Ebyawandiikibwa ebiraga ebibi ebyenjawulo kwekuli Engero 6:16-19, Abaggalatiya 5:19-21, n’Abakkolinso 6:9-10. Tewali kubuusabuusa nti ebyawandiikibwa bino biraga ebikolwa ebyo okuba ebibi, ebintu Katonda byatayagala. Okutta, obwenzi, okulimba, okubba, nebirala— tewali kubuuzabuuza kwona kubanga Bayibuli eraga ebintu ebyo okuba ebibi. Ensonga esinga okuba enzibu kwe kumanya kki ekibi mu bintu Bayibuli byetaraga buterevu okuba ebibi. Bayibuli bwe teyogedde ku nsonga emu, tulina enkola enambulukufu obulungi okuva mu byawandiikibwa ezitukulemeramu okumanya oba ekintu kibi oba nedda.
Okusookera ddala, bwewaba nga tewali kyawandiikibwa kyogera buterevu ku nsonga eyo, kirungi okubuuza oba ekintu ekyo kirungo oba kibi. Kunsi. Bayibuli okugeza egamba nti tulina “okweguliranga ebbanga” oba okukozesa mu mukisa (Abakkolosaayi 4:5). Enaku zaffe kunsi ntono nnyo era zamuwendo okusinziira bulamu obutaggwaawo era nti tulina obutayonoona budde mu bintu by’okwelowoozaako ffeka, wabula okubukozesa “olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga,” (Abaefeeso 4:29).
Ekigezo ekisooka kwekukeberera oba tusobola mu ndowooza ennungi okusaba Katonda okuwa ekikolwa ekyo oba ekintu ekyo omukisa era akikozese olw’ebigendererwa bye ebirungi. “Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.”(1 Abakkolinso 10:31). Bwewaba nga waliwo okubuusabuusa kyonna oba Katonda anakisanyukira, kirungi okireke “buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.” (Abaruumi 14:23) Tulina okujjukira nti emibiri gyaffe, n’emoyo gyaffe, gyanunulwa era gya Katonda. “Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe. Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.” (1 Abakkolinso 6:19-20). Amazima gano galina okusalawo nnyo ku kki kyetukola era wa gyetutambulira.
Ekirala kiri nti, tetulina okukebera bukebezi ebikolwa byaffe eri Katonda yekka, wabula tulina okuberera oba ebikolwa byaffe bikosa ab’oluganda baffe, emikwano oba abantu abalala. Ekintu ekimu kisobola obutatukosa nga ffe nga ffe, bwekiba nga mungeri emu oba endala kikosa abantu abalala naddala ab’oluganda kiba kibi. “Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya ... Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka.” (Abaruumi 14:21, 15:1).
Eky’enkomerero, jukkira nti Yesu Kristu ye Mukama era Omulokozi waffe, era nti tewali kirina kukkirizibwa kuba wagulu w’okukyusibwa kwaffe okufaanana okwagala kwe. Tewali muze, oba kwesanyusa, oba kigendererwa kirina kukkirizibwa kufuga bulamu bwaffe; Yesu yekka yalina obuyinza obwo, “Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.” (1 Abakkolinso 6:12). “ Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe.” (Abakkolosaayi 3:17).
English
Manya ntya oba ekintu kibi?