settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okusiiba okw’ekristaayo – Bayibuli ekwogerako kki?

Okuddamu


Ebyawandiika tebiragira Mukristaayo kusiiba. Katonda teyeetaga era talagira Mukristaayo kusiiba. Mu kaseera kekamu, Bayibuli eraga okusiiba okuba ekintu ekirungi, ekivaamu amagoba era ekyomugaso. Ekitabo ky’Ebikolwa kiraga abakkiriza nga basiiba nga tebanakola kusalawo kukulu. (Ebikolwa 13:2; 14:23). Okusiiba n’okusaba ebiseera ebisinga bitambulira wamu (Lukka 2:37; 5:33). Ebiseera ebisinga, okusiiba kuba ku kwewala byakulya. Wabula okusiiba kulina kuja maaso ku bintu bya kunsi okusobola okuteeka esiira n’ebirowoozo ku Katonda. Okusiiba y’engeri y’okulaga Katonda wamu naffe nti tutwala enkolagana yaffe naye okuba ekintu ekikulu. Okusiiba kutuyamba okufuna endaba empya n’okutunuulira Katonda okugya.

Newankubadde okusiiba mu Bayibuli ebiseera ebisinga kwewala byakulya, waliwo enkola endala ez’okusiiba. Ekintu kyonna ekirekeddwa okumala akaseera okusobola okuteeka n’ebirowoozo ku Katonda kusobola okutwaliba ng’okusiiba. (1 Abakkolinso 7:1-15). Okusiiba kulina okumala ebanga eggere, naddala bwekuba nga kwewala byakulya. Okusiiba tekugendereddwa kubonereza mubiri, wabula kuteeka birowoozo n’omwoyo ku Katonda. Okusiiba tekulina kutwaliba ng’enkola ey’okusala obuzito, wabula enkola etuyamba ekugenda ebuziba mu kuberawo kwa Katonda. Omuntu yenna asobola okusiiba, wabula abantu bonna bayinza obutasobola kusiiba meera (Okugeeza abantu abalina obulwadde bwa Sukaali). Omuntu yenna asobola okuva ku ekintu ekimu okusobola okusemberera Katonda.

Bwetuja amaaso gaffe ku bintu by’ensi, tusobola okuteeka amaaso ku Kristu. Okusiiba ssi ngeri eretera Katonda okukola kw’ebyo byetwagala. Okusiiba kukyusa ffe si Katonda. Okusiiba ssi si ngeri ya kulabika ng’owomwoyo okusinga abalala. Okusiiba kulina okukolebwa mu mwoyo omuwombeefu era mu sanyu. Matayo 6:16-18 egamba, “Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku: kubanga beeyonoona amaaso gaabwe, era abantu babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso; abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okusiiba okw’ekristaayo – Bayibuli ekwogerako kki?
© Copyright Got Questions Ministries