settings icon
share icon
Ekibuuzo

Nyinza ntya okusonyiwa abankoze obubi?

Okuddamu


Buli muntu asobezeddwa, anyiiziddwa oba akoleddwa obubi. Abakristaayo balina kukola batya singa ebintu bwebityo bitukawo gyebali? Okusinziira ku Bayibuli, tulina okusonyiwa abatusobya. Abaefeeso 4:32 egamba, “era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.” Mu ngeri yemu, Abakkolosaayi 3:13 egamba, “nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo:” Ekikulu mu byawandiikibwa byombi kiri nti tulina okusonyiwa bakkiriza bannafe nga Katonda bweyatusonyiwa. Lwaki tusonyiwa? Kubanga twasonyiyibwa! Okusonyiyibwa kwaffe eri abantu abalala kulina okulaga okusonyiyibwa Katonda kweyatusonyiwa.

Okusobola okusonyiwa abatukoze obubi, tulina okusookera ddala okutegeera Okusonyiyibwa kwetufuna okuva eri Katonda. Katonda tamala gasonyiwa busonyiyi muntu awatali bukwakkulizo—singa kyali bwekityo, tewandibaddewo nyanja yamuliro mu Kubikkulirwa 20:14-15. Okusonyiwa, bwekutegeerebwa obulungi, kulimu okwenenya ku ludda ly’oyo aba ayonoonye n’okwagala wamu n’ekisa ku ludda lwa Katonda. Okwagala n’ekisa webiri, wabula okwenenya ebiseera ebisinga kuba kubulawo. N’olw’ekyo ekiragiro kya Bayibuli ekitulagira okusonyiwa tekitegeeza nti tubike ku kibi. Kitegeeza nti, musanyu, olw’ekisa, mu kwagala tusonyiwe abo abeenenyeza. Tulina okuba nga twetegese okusonyiwa singa tuba tuwereddwa omukisa. Ssi emirundi musanvu gyokka, wabula emirundi nsanvu emirundi musanvu. (Mataayo 18: 22). Okugaana okusonyiwa omuntu asabye okusonyiyibwa kiraga, obukyayi, obukaawu, n’obusungu, kyoka nga ku bino byonna tekuli mbala ya Mukristaayo.

Okusonyiwaabao abatukoze obubi kyetaaga okuguminkiriza n’ekisa. Ekanisa erina ekiragiro “mugumiikirizenga eri bonna.” (1 Abasessaloniika 5:14). Tulina okuyisa amaso ku nsobi entonotono abantu zebakola. Yesu yagamba, “naye nange mbagamba nti Temuziyizanga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukiranga n'olwa kkono.” (Matayo 5:39). Si ntibuli luyi ku luba luyina okudizibwayo.

Okusonyiwa abo abatukoze obubi kwetaaga kwetaaga amanyi ga Katonda agakyusa mu bulamu bwaffe. Waliwo ekintu ekiri ebuziba ekiri mu mbala y’abantu eyekibi ekyagala okuwoolera era ekyagala okuddiza. Mu buntu bwaffe twagala okukola obubi bwebumu nga bwetukoledda—bwonkuba eriso nange nkukuba riso, era ekyo kirabika nga kyekyobwenkanya. Wabula mu Kristo, tuwereddwa amanyi okwagala abalabe baffe, okukola obulungi abo abatukyawa, okuwa omukisa abo abatukolimira, era okusabira abo abatuvuma. (Lukka 6:27-28). Yesu atuwa omutima ogwagala okusonyiwa era okukola eby byonna wagulu.

Okusonyiwa abo abatukola obubi kwanguwa singa tutunuulira ekigera Katonda kyasonyiwa ebyonoono byaffe. Ffe abalagiddwa ekisa tetulina ate kugaana kulaga balala kisa. Twononye eri Katonda emirundi egitabalika okusinga omuntu emirundi omuntu yenna gyatukoze obubi. Olugero lwa Yesu mu Matayo 18:23-35 kyakulabirako kirungi ekiraga amazima gano.

Katonda suubiza nti, bwetugya gyali ngatusaba okusonyiyibwa, Atusonyiwa (1 Yokaana 1:9) N’ekisa kyetulaga eri abo abanonya okusonyiyibwa gyetuli kilina okubaawo ebiseera byonna. (Lukka 17:3-4).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Nyinza ntya okusonyiwa abankoze obubi?
© Copyright Got Questions Ministries