settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okulaba ensi ensi mu ngeri ey’ekristaayo kyeki?

Okuddamu


Endaba y’ensi etegeeza ngeri omuntu gyalaba ebintu byonna ebiri mu nsi nga ayina wasinzidde. N’olwekyo, endaba ey’ensi ey’ekristaayo etegeeza endaba ey’ensi ng’omuntu asinzidde bukristaayo. Endaba ey’ensi ey’omuntu “ky’ekifaananyi ekinene” ekigatta ebyo byonna byakkiriza ku nsi. Y’engeri gyategeeramu ebintu ebiliwo era ebituufu. Endaba ey’ensi gwemusingi omuntu kwayimilira buli lunaku ng’akola okusalawo era yamugaso nnyo.

Amuyembe oguli ku meeza gusobola okulabibwa abantu bangi. Ayo asoma ku bimera aguteeka mu mutendera weguggwa mu bibala. Omukubi webifaananyi alaba kifaananyi kyakukuba. Atunda eduuka alaba kyatunzi era agugatta ku byalina okutuunda, Omwana alaba kyamisana era agulya. Engeri gyetulaba embeera yonna eva ku ngeri gyetulaba ensi mu bunene bwayo. Buli ndaba y’ansi oba yakristaayo oba nedda, etunuuliraku bintu nga bisatu wamanga.

1. Twavaawa? (era lwaki tuli wano?)

2. Kikyamu kki ekyatuuka ku nsi?

3. Tusobola tutya okukitereeza?

Endaba ey’ensi esinga okuyatikilira yesigama ku butonde, era eddamu ebibuuzo ebisatu wagulu mu ngeri bweti.

1. Twava mu bikolwa ebitali bigereke eby’obutonde era tetulina nnyo mulamwa

2. Tetuwa butonde kitibwa nga bwekyetaagisa

3. Tusobola okukuuma enso okuyita mu kukuuma obutonde.

Endaba ey’ensi esinga okuyatikilira yesigama ku butonde, era eddamu ebibuuzo ebisatu wagulu mu ngeri bweti.

4. Twava mu bikolwa ebitali bigereke eby’obutonde era tetulina nnyo mulamwa

5. Tetuwa butonde kitibwa nga bwekyetaagisa

6. Tusobola okukuuma enso okuyita mu kukuuma obutonde.

Endabo ey’ensi eyo wagulu ereeta enzikiriza nnyingi nga engamba nti

1. “tewali mpisa ntuufu zifuga nsi yonna wamu. Buli kiwayi kilina ezaakyo.”,

2. “Omuntu olina eddembe era obuvunanyizibwa okukula mu ngeri yonna okusinziira ku kukusalawo kwe”(soma existentialism)

3. “amakulu g’ekilowoozo gasangibwa mu bitukawo singa ekilowoozo ekyo kitekebwa mu nkola era ebintu ebitasobola kutekeebwa mu nkola bilina okuganiibwa.(Soma Pragmatism)

4. Enzikiriza nti wasobola okubaawo embeera ng’ebintu byonna bitukkiridde. Ensomesa enno erabibwa nga tesoboka”

Endaba y’omukristaayo , wabula eddamu ebibuuzo ebisatu ng’esinziira ku Bayibuli:

1. Tuli bitonde bya Katonda, era nga twatondebwa okufuuga ensi era n’okubeera awamu naye. (Oluberyeberye 1:27-28; 2:15). Twayonoona eri Katonda era netuletera ensi okuba n’ekikolimo (Oluberyerye 3:15, Lukka 19:10), era olunaku lumu aliza buggya ebutonde mu kifo kyebwalimu (Isaaya 65:17-25). Endaba ensi mu ngeri ey’ekristaayo etuletedde okukkiriza mu mpisa entuufu, ebyamagero, ekitiibwa ky’abantu, era n’esuubi ly’okulokolebwa.

Kikulu okujjukira nti endaba y’ensi ngazi. Ekwaa ku buli katundu ku bulamu bwaffe, okuva ku sente okutuuka ku mpisa, okuva ku byobufuzi okutuuka ku bintu ebisanyusa abantu. Obukristaayo obutuufu tekukoma ku biki ebilina okukolebwa ku Kanisa. Obukristaayo nga bwebusomesebwa mu Bayibuli nabwo ndaba ey’ensi eyetongodde. Bayibuli teyawula wakati wobulamu obwakatonda n’obwensi, obulamu bwekristaayo bwebulamu bwoka obuliyo. Yesu yagamba nti nze kubo namazima n’obulamu(Yokaana 14:6) era, mukukola ekyo nafuuka endaba yaffe ey’ensi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okulaba ensi ensi mu ngeri ey’ekristaayo kyeki?
© Copyright Got Questions Ministries