Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku kuwabira emisango oba okwewaabira?
Okuddamu
Omutume Pawulo yalagira Abakkiriza ab’Ekkolinso obutatwaala banabwe mu kooti (1 Abakolinso 6:1-8). Abakristaayo okulemererwa okusonyiwa banabwe kuba kuwangulwa mu mwoyo. Lwaki omuntu yegomba okufuuka Omukristaayo singa Abakristaayo baba balina ebizibu bingi ate byebatasobola kugonjoola? Wabula, waliwo ebintu ebimu ebituukawo nga okugenda u kooti kwekulina okukolebwa okugonjoola ensonga. Emitendera gy’okutabagana egya Bayibuli bwegiba nga gyonna gigobereddw (Matayo 18:15-17) wabula ng’oyo alina omusanga akyavunanibwa, ebiseera ebimu, okugenda mu kooti kusobola okuba nga kwekusinga. Kino kirina okukolebwa nga okusaba amagezi okwamanyi (Yakobo 1:5), n’okufuna okuwabulwa okuva eri abakulembeze ab’omwoyo.
Amakulu agawamu agali mu 1 Abakkolinso 6:1-6 gakola ku njawukana ezibeera mu Kanisa, wabula Pawulo alaga ekifaananyi kya kooti bwayogera ku misango egikwata ku bintu eby’obulamu buno. Pawulo ategeeza nti ekooti weeri olw’ensonga ez’obulamu eziri wabweru w’ekanisa. Ebizibu by’ekanisa tebirina kutwalibwa mu kooti, wabula bilina kugonjolwa kuyita mu mukanisa.
Nga Ebikolwa 21:22 bweyogera ku Pawulo bweyakwatiibwa nasibibwa mu bukyamu olw’omusango gweyali teyakola. Abaruumi bamukwata era ‘‘omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu kigo, ng'agamba okumukemereza n'emiggo alyoke ategeere ensonga gye bamulanze okwogerera waggulu ku ye bwe batyo. Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omwami eyali amuyimiridde okumpi nti Si kya muzizo mmwe okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango?” Pawulo yakozesa amateeka g’Abaruumi okwekuuma. Tewali kikyamu kukozesa kooti kasita eba nga ebintu ebikola bulungi n’omutima omulongoofu.
Pawulo ayongera nagamba ‘‘Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?’’(1 Abakkolinso 6:7). Ekintu Pawulo kyafaako wano bwebujulizi bw’Omukristaayo. Kiba kisingako okukozesebwa oba okutyobolebwa, okusinga okusindika omuntu okuva ku Kristo nga tumutwala mu kooti. Kki ekisinga—olutalo mu kooti oba olutaalo okuwangula omwoyo omwoyo gw’omuntu ogubeerera emirembe.
Mu kuwumbawumba, Abakristaayo ddala balina okwetwala mu kooti ku nsonga z’ekanisa? Nedda! Abakristaayo ddala basobola okwetaala mu kooti olw’ensonga eziri wabweru w’ekanisa? Bwekiba nga kisobola okwewalibwa, nedda. Wabula, mu nsonga ezimu, katugeze okukuma eddembe lyaffe (nga bwetulabye ku byatuuka ku mutume Pawulo), kisoboka okuba nga kigwana okunonya okuddibwamu okuva mu mateeka mu kooti.
English
Bayibuli eyogera kki ku kuwabira emisango oba okwewaabira?