settings icon
share icon
Ekibuuzo

Obutakkiriza kumanya kwonna ku kubaawo kwa Katonda kitegeeza kki?

Okuddamu


Entegeera eno egamba eno egamba nti okubaawo kwa Katonda tekusoboka kutegeerebwa oba kumanyibwa. Ekigambo agnostic (soma agunositiki), kiteegeza “obutaba na kumanya” Endowooza eno eri wagulu ko kw’eyo ewakanya okubaawo kwa Katonda (Etheism). Endowooza eno egamba nti okubaawo kwa Katonda tekusobola kuzuulibwa oba kuwakanyizibwa. Egamba nti tekisoboka kumanya oba Katonda gyali oba taliiyo. Mu kino endowooza eno ntuufu. Okubaawo kwa Katonda tekusobola kuzuulibwa oba kuwakanyizibwa mu ngeri y’okugezesebwa.

Bayibuli etugamba nti tulina okukkiriza okubaawo kwa Katonda lwa Kukkiriza. Abaebbulaniya 11:6 egamba nti “era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya” Katonda mwoyo (4:24) nolw’ekyo tasobola kulabibwa oba kukwatibwako. Okugyako nga Katonda asazeewo okweraga, tasobola kulabibwa ba maaso gaffe.(Abaruumi 1:20), Bayibuli egamba nti okubaawo kwa Katonda kusobola okulabibwa bulungi mu nsi (Zabbuli 19:1-4), okulabibwa mu bitonde (Abaruum 1:18-22), era kusobola okukkasibwa mu mitima gyaffe (Omubuulizi 3:11).

Abawakanyi tebasalawo ku kubaawo oba ku butabaawo bwa Katonda. Kwe kusalawo okugaana okusalawo okusinga. Abattakiriza nti Katonda gyali bo basalawo obutakkiriza mu kubaawo kwa Katonda. Abakkiriza nti Katonda nabo balaga okusalawo kwabwe. Abawakanya ebikwata ku Katonda bo bakkiriza nti tetulina kuwakanya oba kukkiriza kubaawo kwa Katonda, kubanga tekisoboka kumanya oba kukkiriza.

Olw’ekigendererwa ky’ekibuuzo, katulabe obukakafu ku kubaawo kwa Katonda obutasobola kugaanibwa. Bwetuteeka okukkirza n’okuwakanya okubeerawo kwa Katonda ku kisero kimu nga kyekyangu okukkiriza naddala bwetutunira ensonga z’obulamu obuddako nga tufudde bino betulina okutunuulira. Bwaba Katonda taliyo, abakkiriza wamu nabawakanyi bonna tebaba na bulamu nga bafudde. Bwewaba nga waliyo Katonda, Abakkiriza n’abawakanyi bombi bagenda kuwa embalirira eri omuntu omu bwebafa. Endowooza eno, nkulu nyo era nyangu okutegeera omuntu okusalawo okuba omukkiriza oba omuwakanyi. Enzowooza zombi bweziba nga tezisobola kukakasa okubaawo kwa Katonda, kiba kyamagezi okukebera endowooza esobola okuba n’enkomerero eyagalibwa era ennungi.

Kyabulijo era kyabuntu okuba n’okubuusabuusa. Waliwo ebintu binji munsi byetutategeera. Ebiseera ebisinga, abantu babuusauusa okubaawo kwa Katonda kuanga tebakutegeera oba nga tebakkiriganya na bintu byakola oba byakkiriza. Wabula, ng’abantu abakoma, tetulina na kusuubira kutegeera Katonda atakoma. Abaruumi 11:33-34 egamba “Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika! Kubanga ani eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? oba ani eyali amuwadde amagezi?” Tulina okukkiriza Katonda nga tuyita mu kukkirza era nga twesiga engeri ze. Katonda mwetegefu okweraga eri abantu be abamukkiriza nga ayita mu ngeri ezewunyisa. Ekyamateeka 4:29 egamba “Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw'onoomunoonyanga n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna.”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Obutakkiriza kumanya kwonna ku kubaawo kwa Katonda kitegeeza kki?
© Copyright Got Questions Ministries