Ekibuuzo
Ddala kituufu omukristaayo okwagala oba okuwasa omuntu atali mukristaayo?
Okuddamu
Ddala kituufu omukristaayo okwagala oba okuwasa omuntu atali mukristaayo?
Okuddamu:
Eri Omukristaayo, okwagala omuntu atali Mukristaayo tekiba kya magezi era okuwasa atali Mukristaayo kikyamu. 2 Abakkolinso 6:14 etugamba “obutenkanankana” n’abatakakkiriza. Ekifaananyi kiringa ente biri ezilima ezitakwatagana okugabana ekikoligo. Mu kifo ky’okukolera awamu okusika enkumbi, ziba bili emu esika eza waayo. Newankubadde nga olunyiriri luno telulimu kigambo bufumbo wantu wonna, lwogera ku bufumbo era likwata ku bufumbo. Ekyawandiikibwa kino kyongera ne kyogera nti tewali wantu wonna Kristu ne Bayaali (Sitaani) webakwataganira. Tewasobola kubaawo kugattagana mu mwoyo wakati w’omukristaayo natali Mukristaayo. Pawulo agenda mu maso nagamba Abakristaayo nti yekaalu y’omwoyo Mutukuvu, atuula mu mitima gyabwe ku kulokolebwa (2 Aakkolinso 6:15-17). Olw’ensonga eyo, balina okwawulibwa ku nsi— ekitegeeza nti bali kunsi naye si ba nsi — era ekyo tekirina wantu wonna wekisinga kuba kya mugaso okusinga mu mukwano ¬— mu bufumbo.
Bayibuli era egamba, “Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33). Okugwa mu mukwano n’omuntu atakkiriza kisobola okuvaamu omuziziko eri entambulayo ne Kristu. Tuyitibwa okubuulira abaabula enjiri, ssi kugwa mu mukwano nabo. Tewali kikyamu kituukawo singa obeera n’enkolagana n’abatakkiriza, wabula kirina kukoma awo. Bwoba oli mukwano n’omuntu atali mukristaayo, kiki ekiba kigenda okuba ekikulu mu mukwano gwo naye, kuba mu mukwano oba kuwangula mwoyo gwe kulwa Kristu? Bwona ofumbiddwa omuntu atali mukkiriza, onosobola otya okuteekawo enkolagana ey’omwoyo esanyusa Katonda mu bufumbo bwo? Obufumbo obulungi busobola butya okuzimbibwa era okukuumibwa bwemuba nga temukkiriziganya ku nsonga ekyasinze okuba enkulu ku nsi — ensonga ya Yesu Kristu?
English
Ddala kituufu omukristaayo okwagala oba okuwasa omuntu atali mukristaayo?