Ekibuuzo
Kisumuluzo ekiwangaaza obufumbo kyeki?
Okuddamu
Kisumuluzo ekiwangaaza obufumbo kyeki?
Okuddamu:
Kiki abafumbo abagalana kyebasobola okuwangaaza obufumbo bwabwe? Ekisooka era nga kyekisinga okuba ekikulu kwekugondera Katonda n’Ekigambo kye. Eno y’ensonga erina okulowoozebwako era okuteekebwa mu nkola nga obufumbo tebunatandika. Katonda agamba, “Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye?” (Amosi 3:3).Eri omulokole, kino kitegeeza butatandika nkolagana yonna na muntu atali mukkiriza. Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza? n’obubi bulina kki ekifaangana? Oba ekizikiza n’ekitangaala bitabagana bitya”(2 Abakkolinso 6:14). Ensonga eno singa eba egobereddwa, esobola okuwonya abafumbo okuboonaboona n’okulumwa omutwe mu bufumbo bwabwe.
Ensonga endala esobola okukuuma obufumbo eri; nti omusajja alina okugondera Katonda era nayagala, nasaamu mukyala we ekitiibwa, era namukuuma nga bakola eri omubiri gwe (Abaefeeso 5:25-31). Enkola ekwatagana n’eno eri nti omukyala naye alina okugondera Katonda era nawulira omwami we, nga bwawulira Katonda.(Abaefeeso 5:22). Obufumbo wakati w’omukazi n’omusajja kifaananyi ky’enkolagana wakati wa Kristu ne Kanisa.Kristu yewaayo ku lw’ekanisa era agyagala, agiwa ekitiibwa era agikuuma “ng’omugole we” (Okubikkulirwa 19:7-9).
Nga bazimbira ku musingi gw’obufumbo obukulemberwa Katonda, abafumbo bangi basanga engeri nyingi ezisobola okuyamba obufumbo bwabwe okuwangaala okugeza: okufuna akaseera akalungi akamala nga bali bombi; okugamba munne nti “nkwagala” buli kiseera; okubeera owekisa; okulaga okwagala; okuwaana munno, okugenda ku kyegulo oba ekyemisana ekiteeketeeke; okwewandiikira obubaluwa; okwewa obulabo, okuba nga wetegese okusonyiwa, n’ebirala bingi. Bino wagulu byonna biri mu biragiro bayibuli byewa omwami n’omukyala abafumbo.
Katonda bweyaleeta Kaaw eri Adamu okusooka, yali akoleddwa mu “nyama ye era mu gumba lye” (Oluberyeberye 2:21) era nebafuuka “omubiri gumu” (Oluberyeberye 2:23-24). Okufuuka omubiri gumu tekitegeeza kwegatta mu mukwano kyoka wabula kisingirawo ddala. Kitegeeza okugatibwa kw’ebirowoozo, n’omwoyo okufuuka ekintu ekimu. Enkolagana eno esinga wo nnyo ku kwegata mu mukwano oba okwatagana kwona mu birowoozo era egenda wala mu kutuuka mu bumu mu mwoyo okusobola okutuukawo singa abafumbo bombi bewaayo eri Katonda na buli omu eri munne. Enkolagana eno teyesigama ku “nze oba ebyange” wabula “ffe oba ebyaffe.” Kino kyekimu ku byama ky’obufumbo obuwanga.
Okulaba nga obufumbo buwangala ky’ekintu abagalana kyebalina okulowoozaako bombi ng’ekintu ekikulu. Abafumbo abalina obufumbo obwangadde bajaguza okusalawo kwabwe buli omu eri munabwe. Abafumbo abamu bakifuula nsonga obutayogera ku kwawukana, newankubadde nga banyiize. Okunyweza enkolagana y’omuntu ne Katonda kitwaliramu okulaba nga enkolagana yo n’omwami oba n’omukyala yalubeerera era ng’ewa Katonda ekitiibwa.
Abafumbo abagala obufumbo bwabwe okuwangala balina okuyiga okukola oku bizibu. Okusaba, okusoma Bayibuli, n’okwezaamu amanyi mweka na mweka kirungi nnyo. Era tewali kikyamu na kufuna buyambi okuva wabweru; era amazima gali nti ensonga y’ekanisa eri “okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi” (Abaebbulaniya 10:24). Abagalana abalina obuzibu mu bufumbo balina okufuna okuyambibwa okuva eri abafumbo Abakristaayo abakulu, omusumba, oba omukugu mu kubudaabuda abafumbo okusinziira mu Bayibuli.
English
Kisumuluzo ekiwangaaza obufumbo kyeki?