settings icon
share icon
Ekibuuzo

Biki Abafumbo abakristaayo byebakkirizibwa ne byebatakkirizibwa kukola mu kwegata mu mukwano?

Okuddamu


Biki Abafumbo abakristaayo byebakkirizibwa ne byebatakkirizibwa kukola mu kwegata mu mukwano?

Okuddamu:

Bayibuli egamba nti “Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.” ( Abaebbulaniya 13:4). Ebyawandiikibwa tebyogera ku biki abafumbo byebalina kukola oba bye batalina kukola nga bali mu kwegata. Abafumbo balagibwa nti “Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu,” (1 Abakkolinso 7:5a). Ekyawandiikibwa kino osanga kiteekawo enkola elina okugobererwa mu nsonga z’okwegata. Buli ekikolebwa kirina okukkirizibwako abafumbo bombi. Tewali alina kusindiikirizibwa kukola kintu kyawulira nti si kirungi oba si kituufu. Bwebaba nga abafumbo bakkiriza okugezaako ekintu ekipya (katugeze okukozesa emimwa gyabwe mu kwegata, okugezaako obukodyo obulala mu kwegata, okukozesa ebintu ebyenjawulo mu kwegata n’ebirala), Bayibuli tewa nsonga yonna lwaki tebalina kugezaako.

Wabula waliwo ebintu ebitonotono ebitakkirizibwa kukolebwa bafumbo Abakristaayo. Enkola “ey’okuwanyiisa”, oba okuleeta omuntu omulala (okuba n’abantu basatu oba bana mu kwegata) buba bwenzi bwenyini. (Abaggalatiya 5:19; Abaefeeso 5:3; Abakkolosaayi 3:5; 1 Abasessaloniika 4:3). Obwenzi kibi newankubadde omwagalwa wo abukkiriza, oba abwenyigiramu. Okulaba ebifaananyi n’obutambi obw’obuseegu kisonga ku “kwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso” (1 Yokaana 2:16) era nakwo kugaanibwa Katonda. Abafumbo tebalina kuleeta bifaananyi bya buseegu mu kwegata mu mukwano. Ng’ogyeko ebyo wagulu, tewali kintu kiganibwa Bayibuli buterevu ekitalina kukolebwa bafumbo nga begata kasita baba nga bakkikiriziganyizaako bombi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Biki Abafumbo abakristaayo byebakkirizibwa ne byebatakkirizibwa kukola mu kwegata mu mukwano?
© Copyright Got Questions Ministries