Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku kudeetinga oba okweyogereza?
Okuddamu
Bayibuli eyogera kki ku kudeetinga oba okweyogereza?
Okuddamu:
Newankubadde okweyogereza/okwogereza oba okudetinga tekiri mu Bayibuli, tuwebwa enkola abakristaayo zebasobola okugoberera mu kaseera kebayitamu nga tebanafumbiriganwa Ekisokeera ddala kiri nti tulina okwawukana ku ngeri ensi gyeraba mu okudetinga kubanga ekola za Katonda zawukana nnyo ku z’ensi (2 Petero 2:20). Newankubadde nga ensi ekiriza okudetinga buli gwosanze, ekisinga okuba ekikulu kwezuula embala z’omuntu oyo nga tonakola kusalawo kwonna eri omuntu oyo. Tulina okuzuula oba omuntu yazalibwa omulundi ogw’okubiri mu mwoyo gwa Kristu (Yokaana 3:3-8) era omuntu oyo bwaba ng’alina okwagala kwekumu eri okufaanana Kristu, (Abafiripi 2:5),Ekigenderwa ky’okudeetinga kwekufuna omwagalwa gwonobeera naye obulamu bwonna. Bayibuli etugamba, nga Abakristaayo nti, tetulina kuwasa oba kufumbirwa muntu atali Mukkiriza (2 Abakkolinso 6:14-15) kubanga ekintu kino kisobola okunafuya enkolagana yaffe ne Kristu era nekyonoona empisa zaffe ne nkola zaffe.
Omuntu bwabang’ali mu mukwano, ng’adeetinga oba ng’ayogereza oba nga ayogerezebwa, kikulu okujjukira okwagala Mukama Katonda okusinga ebintu ebirala byonna (Matayo 10:37). Abakkolosaayi 3:5). Era, Tetulina kwonooana mibiri gyaffe nga twenyigira mu kweggatta mu mukwano nga tetunafuumbiriganwa. (1 Abakkolinso 6:9, 13, 2 Timoseewo 2:22). Okwegatta mu mukwano kibi eri Katonda era kibi eri emibiri gyaffe (1 Abakkolinso 6:18). Kikulu okwagala era okuwa abalala ekitiibwa nga bwetweyagala (Abaruumi 12:9-10), era kino kituufu mu kudeetinga oba okweyogereza. Oba kudeetinga oba kweyogereza, okugoberera enkola zino eza bayibuli kwekutuufu okusobola okufuna omusingi omugumu ogw’obufumbo. Kwekusalawo okusinga obukulu kwetukola, kubanga abantu babiri bwebafumbiriganwa, begatta nebafuuka omubiri gumu mu nkolagana Katonda Katonda gyeyateekateeka okuba eyolubeerera era etamenyebwa (Oluberyeberye 2:24; Matayo 19:5).
English
Bayibuli eyogera kki ku kudeetinga oba okweyogereza?