Ekibuuzo
Ddala Katonda akyayolesa abantu enaku zino? Ddala Abakristaayo basuubire okwolesebwa okuba ekintu kyebalina okuyitamu?’
Okuddamu
Ddala Katonda asobola okwolesa abantu leero? Yye! Ddala Katonda ayolesa abantu leero? Osannga! Ddala tusuubire okwolesebwa okubaawo leero? Nedda! Nga bwekyawandiikibwa lu Bayibuli, Katonda yayogera emirundi mingi okuyita mu kwolesebwa, Okugeza, Yozefu, omwana wa Yakobo, Yozefu, omwami wa Malyamu, Sulemaani, Isaaya, Daniyeri, Petero, ne Pawulo. Nabbi Yoweri yalagula okuyiibwa kw’okwolesebwa,era kino kyakasibwa n’omutume Pawulo mu EBikolwa esuula ey’okubiri. Kikulu okumanya nti enjawulo wakati w’okwolesebwa n’ebirooto eri nti okwolesebwa kuweebwa ng’omuntu atunula wabula ekirooti kiweebwa n’'omuntu yeebase.
Mu bitundu bingi mu nsi, Katonda alabika ng’ayolesa era alooza abantu ebirooto. Mu bifo nga tewali njiri oba ng’abantu tebalina Bayibuli, Katonda ayogera n’abantu ano okuyita mu kwolesebwa oba ebirooto. Kino kikwatagana ne Katonda okukozesa okwolesebwa emirundi emingi okubikkula amazima eri abantu mu biro ebyasooka ey’obukristaayo. Katonda bwaba ayagala okwogera n’omuntu yenna asobola okukozesa engeri yonna gyagala. Asobola okukozesa omumisani, malayika, okwolesebwa, ekiroorto. Era Katonda asobola okwolesa omuntu mu bifo awali enjiri. Tewali kkomo ku kintu Katonda kyasobola okukola.
Mu kaseera kekamu, tulina okuba abegendereza bwekituuka ku kwolesebwa n’okuvuunula okwolesebwa. Tulina okumanya nti Bayibuli yagibwako omukono era erimu buli kimu kyetwetaaga okumanya. Amazima amakulu gali nti, singa aba wakuwa kwolesebwa kwonna, kuba tekukkontana na kigambo kye mu Kigambo kye. Okwolesebwa tekulina kuwebwa buyinza businga oba bwenkana na kigambo kya Katonda. Ekigambo kya Katonda kyekisinga obuyinza mu Bukristaayo. Bwoba osuubira nti olina okwolesbwa oba osubiira Katonda yeyabukuwa, mu kuyita mu kusaba, wetegereze ekigambo kya Katonda era fuba okulaba nti okwolesebwa kwo kukkiriganya n’ekigambo kya Katonda. Awo lowooza okukola ekyo Katonda kyeyandi yagadde okole. (Yakobo 1:5). Katonda tasobola kuwa muntu kwolesebwa ate nakweeka makulu gakwo. Mu byawandiikibwa, omuntu buli lweyasaba amakulu g’okwolesebwa, Katonda yamunyonyola bulungi amakulu ago. (Daniyeri 8:15-17).
English
Ddala Katonda akyayolesa abantu enaku zino? Ddala Abakristaayo basuubire okwolesebwa okuba ekintu kyebalina okuyitamu?’