settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera etya ku lutalo?

Okuddamu


Abantu bangi bakola ensobi bwe basoma Kuva 20:13, “ Tottanga,” ne baagala okukozesa ekiragiro kino ku lutalo. Naye ekigambo eky’olw’ebbulaniya kitegeeza,”okutta omuntu n’ekigendererwa olw’obusungu ng’omazze okukilowoozako; okutemula” Katonda yalagiranga Yisirayeri okugenda mu lutalo na mawanaga amalala (1 Samwiri 15:3, Yoswa 4:13). Katonda yalagira ekibonerezo ekyo’kuffa olw’emisanga egy’enjawulo (Kuva 21:12,15;22:19; Abaleevi 20:11). Kitegeeza, Katonda tawakanya kutta kwonna, naye okugyako omutemula. Olutalo si kintu kirungi, naye olumu kyetaagisa. Munsi ejjudde abantu aboononyi (Abaruumi 3:10-18), olutalo terwewalika. Ebiseera ebimu engeri yokka\ey’okukuuma abantu abonoonyi obutaleeta bulabe eri abo abatalina musango kwe kugenda mu lutalo.

Mu ndagaano Enkadde, Katonda yalagira abaana ba Yisirayeri “okuwolera eri Abameedi ku lw’abayisirayiri ( Kubala 31:12).Ekyamateeka 20:16-17 “Ne baleeta omwandu ne bye baafuna n'omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona n'eri ekibiina ky'abaana ba Isiraeri, eri olusiisira olwali mu nsenyi za Mowaabu, eziri ku Yoludaani e Yeriko.” Era ,1 Samwiri 15:18 agamba “Mukama n'akutuma olugendo, n'ayogera nti Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo.”, Kyalwattu nti Katonda tawakanya buli lutalo. Yesu abeera akanya ne Kitaffe mu buli kimu (Yokaana 10:30). Tetusobola kuwakana nti entalo zaali mukwagala kwa Katonda kwokka mu ndagaano Enkadde. Katonda takyuka (Malaki 3:6; Yakobo 1:17)

Okudda kwa Yesu kuliba kw’amannyi nnyo. Kubikkulirwa 19:11-21 etulambikira olutalo olusembayo olwa Kristu, omuduumizi awangula era akola entalo “mu bwenkanya” (v. 11) lugeenda kubeera lwa musaayi (v.13) era nga lwantiisa Ebinyonyi birirya enyama yabo abamuwakanya (v.17-18). Talina kisa eri abalabe be , baagenda okuwangula era abasuule mu “eyomuliro eyaka n’ekibiriti”

Eba nsobi okugamba nti Katonda tawagira ntalo. Yesu awagira entalo. Munsi egyudde abantu ababi, olumu olutalo lwetagisa okulemesa obubi obusingawo. Senga Hitler teyawangulwa mu sematalo ow’okubiri, abantu bamekka abandibadde batiddwa? Senga olutalo lw’Amerika olw’omunda terwalwanibwa, Abaddugavu abamerica andiboonyeboonye kutuusa ddi ng’abaddu?

Olutalo kintu kibi nyo. Entalo ezimu zabwenkanya okusinga endala, naye entalo ziva mu kibi (Abaruumi 3:10-118).Omubuulizi 3:8 agamba “ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu.” Munsi ejudde ekibi, obukyayi, n’obubi (Abaruumi 3:10-18), entalo tezewalika. Abakristayo tebalina kwagala ntalo, naye era tebalina kuwakanya bufuzi Katonda bwataddewo. (Abaruumi 13:1-4; 1 Peteero 2:17) Ekintu ekisinga obukulu kyetusobola okukola mu biseera ebyentalo kwe kusabira abakulembeze amagezii ag’obwakatonda, okusabira abaserikale obukuumi, okusaba amagezi agokukomya entalo okufunibwa amangu, n’okusaba abantu bulijjo abafuna ebisago n’abattibwa okubeera abatono ku njuyi(Abaffiripi 4:6-7).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera etya ku lutalo?
© Copyright Got Questions Ministries