Ekibuuzo
Bayibuli eyogera kki ku kukozesa oba okufuga sente?
Okuddamu
Bayibuli erina ebintu bingi byeyogera ku kukozesa oba okufuga sente. Ku kwewola, Bayibuli okutwaliza awamu tekuwagira. Soma Engero 6:1; 20:16; 22-7, 26:27(“Omuggaga afuga omwavu era oyo eyewola muddu eri awola….Toba musajja ateeka omusingo ku banja; bwoba tolina ngeri yakusasula banja, ekitandakyo kija kutwalibwaako”). Bayibuli eddiŋŋana emirundu n’emirundi okukuŋŋanya buggaga wabula n’etukubiriza okunonya obuggaga ’bw'omwoyo. Engero 28:20: “ Omuntu omwesigwa aliba n'okwebazibwa kungi: Naye ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.” Laba Engero 10:15; 11:14; 18:11; 23:5.
Engero 6:6-11 etuwa amagezi ku bugayaavu n’okwonooneka okuvaamu. Tugambibwa okutuunulira enkuyege ekola ennyo eokusobola okutereka emmere yaayo. Bayibuli era etulabula obutebaka mu kaseera ketulina okuba nga tukoleramu ekintu eky’omugaso. “omugayaavu” ye muntu eyebaka mu kaseera ak’okukola. Enkomerero ye emanyiddwa okuba obwa n’okubulwa. Mu ngeri y’emu, y’emuntu ayagala ennyo okufuna sente. Oyo, okusinziira ku Omubuulizi 5:10, taba na buggaga busobola kumumatiza era aba ayaggayagga okufuna ekweyongerayongera. 1 Timoseewo 6:6-11 era erabula ku mutego oguli mu kwagala okuggagawala.
Mukifo ky’okwagala okwekuŋŋanyizaako obuggaga, Bayibuli ate eraga nti tulina kugaba, ssi kufuna. “Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi. Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.” Tukubirizibwa era okuba abawanika abalungi ab’ebyo Katonda byatuwadde. Mu Lukka 16:1-13, Yesu agera olugero lw’omuwanika ataali wa mwesigwa nga atulabula ku buwanika obutali bulungi. Ekigendererwa ky’olugero okisanga my lunyiriri olw’ekumi n’emu, “Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima?” Tulina obuvunanyizibwa okugabirira ab’enju yaffe nga 1 Timoseewo 5:8 bwatujjukiza: “Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe n'okusinga ab'omu nnyumba ye nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.”
Mu kuwumbawumba, Bayibuli say ku kukozesa sente? Eky’okuddamu kisobola okuwumbibwawumbibwa mu kigambo kimu—magezi. Tulina okuba abagezi ne sente. Tulina okutereka sente wabula ssi kuzituuma.Tulina okukozesa sente, wabula mu magezi era mu kwegendereza. Tulina okuwa eri Mukama, mu sanyu era mu ngeri ya saddaka. Tulina okukozesa sente okuyamba abantu abalala wabula nga tukozesa okubikkulirwa era okukulemberwa omwoyo. Ssi kibi okubeera omuggaga, wabula kibi okwagala sente. Ssi kii okubeera omwavu, wabula kibi okwonoona sente ku bintu ebitagasa. Obubaka Bayibuli bwesinga okubuulira ku kukozesa sente kwekuba n’amagezi.
English
Bayibuli eyogera kki ku kukozesa oba okufuga sente?