settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala omukyala alina okuwulira oba okugondeera omwami we?

Okuddamu


Ddala omukyala alina okuwulira oba okugondeera omwami we?

Okuddamu:

Okuwulira oba okugonda nsonga nkulu nnyo mu nkolagana mu bufumbo. Kikino ekiragiro kya Bayibuli: “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini.Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.” (Abaefeeso 5:22-24).

Ekibi nga tekinayingira ensi waliwo enkola y’obukulembeze bw’omwami (1 Timoseewo 2:13). Adamu yeyatonebwa okusooka, Kaawa yatondebwa kuba “muyambi” wa Adamu (Oluberyeberye 2:18-20). Katonda ataddewo ebika bingi oby’obuyinza mu nsi: gavumenti okuteekawo obwenkanya n’obukuumi mu nsi; abasumba okukulemebera n’okuliiisa endiga za Katonda; abaami okwagala n’okulabirira bakyala babwe; ba Taata okugunjula abaana babwe. Mu buli mutendera, okugonda kwetaagibwa: abatuuze eri gavumenti, endiga eri omusumba, omukyala eri omwami we, omwana eri Taata we.

Mu Luyonaani, ekigambo “okuwulira” hupotasso(soma hupotaso), kitegeeza okuwulira Katonda, gavumenti, omusumba, oba omwami era si kintu ekikolebwa omulundi ogumu wabula ekyabuli lunaku. Nkola ya buli lunaku era erina kuba mpisa ya buli lunaku.

Okusookera ddala, tulina obuvunanyizibwa okugondera Katonda kubanga y’engeri yokka gyetulina okusobola okumugundera. (Yakobo 1:21; 4:7). Era buli Mukristaayo okuba omwetowaze era yetegese okugondera abalala. (Abaefeeso 5:21). Ku nsonga z’okugonda mu famire, 1 Abakkolinso 11:2-3 egambanti omusajja alina okuwulira Kristu (nga Kristu bweyawulira Katonda Kitaawe) era omukyala alina okuwulira omwami.

Wabuliwo okubuuzabuuza kungi mu nsi yaffe leero ku buvunanyizibwa bw’omwani n’omukyala mu bufumbo. Newankubadde nga obuvunanyizibwa butegerebwa bulungi, bangi basalawo okubugaana nebaloonda ekiyitibwa “omwenkanonkano gw’abakyala era oguletedde amaka okuyuzibwamu ebitundutundu. Tekyewunyisa nti ensi egaana engeri Katonda gyeyateekateeka famire, wabula abantu ba Katonda balina okusanukira mu nteekateeka eno.

Okuwulira oba okugonda ssi kigambo kibi. Okuwulira oba okugonda tekiraga bunafu oba kuba na muwendo omutono. Kristu ebiseera byona yakkakana eri okwagala kwa Kitaawe (Lukka 22:42; Yokaana 5:30), nga tafiriddwa muwendo gwe wadde nakatono.

Bwetuba bakuwakanya kubuzaabuzibwa kw’ensi ku nsonga z’omukyala okugondera oba okuwulira omwami we, tulina mu bwegendereza obungi okutunuulira enyiri eziri mu Abaefesso 5:22-24:

1) Omukyala alina kuwulira mwami omu (Omwamu we), si buli musajja. Okuwulira tekutwaliramu basajja bonna abali mu kitundi mwabeera.

2) Omukyala alina okusalawo okugondera omwami we okusobola okugondera Kristu Mukama waffe. Awulira omwami we kubanga ayagala Yesu.

3) Eky’okulabirako ky’okuwulira oba okugonda kw’omukyala kye eky’ekanisa eri Kristu

4) Tewali kintu kyona kyogerwa ku busobozi, talanta, oba omuwendo gw’omukyala. Okuba nti alina okuwulira omwami we tekitegeeza nti ali wansi, oba omuwendo gwe mu Kristu guli wansi ku gw’omusajja.

Era tulina okumanya nti okugonda kugenda mu “buli kintu kyonna.” Nolw’ekyo, omusajja talina kubaako kigezo kyalina kuyita oky’okutegeera mu maaso ga mukyala we okusobola okumuwulira. Kisoboka okuba nti alina ebisanyiizo ebisinga ku by’omusajja okukulembera mu nsonga zonna, wabula asalawo okugoberera ebiragiro bya Mukama nga awulira era nga agondera obukulembeze bw’omwamu we. Mu kukola ekyo, omukyala atya Katonda asobola okuwangula omwami we eri Mukama “nga takozeseza bigambo” wabula olw’empisa ze (1 Petero 3:1).

Okugonda kulina kyakuddamu eri okukulembera okujjude okwagala. Omwami bwaba ayagala mukyala we nga Kristu bweyagala ekanisa (Abaefeeso 5:25-33), okuwulira kwekuba eky’okuddamu okuva eri omukyala eri omwami we. Wabula, newankubadde omwami aba tayagala oba nga abulamu mu kwagala, omukyala alagibwa okumuwulira nga “awulira Kristu” (Olunyiriri 22). Kino kitegeeza nti okugonda kwe eri Katonda—okukkiriza enteekateeka Ze—kulina kuvaamu kuwulira mwami we. Bayibuli bwegamba “nga bwe muwulira Mukama waffe.” Kitegeeza nti waliwo obuyinza obusinga obumufuga. Kitegeeza nti talina kujeemera teeka lya Katonda mu olw’okubanga alina okuwulira Omwami. Awulira eri ebintu ebituufu era ebiri mu mateeka ga Katonda era ebiweesa Katonda ekitiibwa. Kitegeeza nti tawulira eri okumuvoola—kubanga ekyo si kituufu eri era tekiweesa Katonda kitiibwa. Okusalawo okukozesa “okugonda” okuwagira okuvoola omuntu kuba kunyoola byawandiikibwa era kuwagira bubi.

Okugonda kw’omukyala mu eri omwami mu Abaefeeso 5 tekiwa mwami beetu kuba nakyemalira oba okukuzesa effugabbi. Ekiragiro kye kwekwagala(Olunyiriri 25), era alina obuvunayizibwa mu maaso ga Katonda okutuukiriza ekiragiro ekyo. Omwami alina okukozesa obuyinza bwe mu magezi, mu kisa, era mu kitya Katonda gwalina okuwa embalirira.

Omukyala bwaba ayagalibwa omwami we ng’ekanisa bweyagalibwa Kristu, okugonda oba okuwulira tekuba kuzibu. Abaefeeso 5:24 egamba, “Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.” Mu bufumbo, okuwulira kuba kuwa mwami kitiibwa. (Laba Abaefeeso 5:33) era okujjuza ekyo ekiba kibulawo. Nteketeeka ya Katonda ya Katonda ku ngeri amaka gyegalina okukola.

Omuwandiisi Mathew Henry(Soma Matayo Kenule), “Omukyala yakolebwa okuva mu libirizi lw’omusajja. Si kuva mu mutwe kumufuga oba kuva mu bigere kulinyibwa, wabula okuva ku ludda lwe okusobola okwenkanankana naye, wansi w’omukono gwe okusobola okukumibwa, era okuva okumpi n’omutima okusobola okwagalibwa” Amateeka g’omwami n’omukyala mu Abaefeeso 5:19-33 galimu okujjuzibwa Omwoyo mutukuvu. Abakkriiza abajjudde Omwoyo balina okusinza (5:19), okwebaza (5:20), era okuwulira oba okugonda ( 5:21). Pawulo awo akwataganya endowooza eno ku bakyala ku lunyiriri 22-24. Omukyala alina okugondera Omwami , ssi lwakuba omukyala wa wansi ku musajja (Bayibuli terina wekisomeseza), wabula lwakuba eno y’engeri gyeyateekateeka enkolagana mu bufumbo okukola.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala omukyala alina okuwulira oba okugondeera omwami we?
© Copyright Got Questions Ministries