settings icon
share icon
Ekibuuzo

Omukristaayo yaani?

Okuddamu


Amakulu g'ekigambo Omukristaayo gandifaananye "Muntu ayatula okukkiriza kwe mu Yesu, oba ediini eyesigamye ku nsomesa ya Yesu. Newankubadde eno ntandikwa nnungi, ebulamu okunyonyora okw'amazima gga Bayibuli aganyonyola kiki Omukristaayo kyali era kyategeeza. Ekigambo Omukristaayo kikozesebwa emirundi esatu mu ndagaano empya (Ebikolwa 11:26; 26:26, 1 Petero 4:16). Abagoberezi ba Yesu okusooka bayitibwanga "Abakristaayo" mu Antiyokiya (Ebikolwa 11:26) kubanga enneyiisa yaabwe, byebaakolanga, nebigambo byabwe, byalinga ebya Yesu. Ekigambo "Omukristaayo" kitegeeza "Ava mu kibiina kya Kristu" oba "Omugoberezi wa Kristu"

Eby'embi, ebiseera gyebimaze nga biyitawo, ekigambo "Omukristaayo" kifiriidwa amakulu manji era kitera okukozesebwa ku muntu munnaddiini, oba alina empisa ennungi, nebwaba nga akiriza oba nga tagoberera Yesu Kristu. Abantu banji abatakkiririza mu Yesu betwaala okuba abakristaayo kubanga bagenda mu Kanisa oba babeera mu nsi emanyi Katonda. Naye okugenda mu Kanisa, okuyamba abo abeetaaga, oba okubeera omuntu omulungi, tekikufuula mukristaayo. Okugenda mu Kanisa tekikufuula mukristaayo ng'okugenda mu garagi y'emotokka bwekitakufuula emotoka. Okuba Memba wa Kanisa, obutayosa kukuŋŋaana, oba okuwaayo eri omulimu gwonna kanisa gwekola tekikufuula mukristaayo.

Bayibuli etugamba ebikolwa ebirungi byetukola tebisobola kutukirizissa katonda. Tito 3:5 atugaamba "n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu," Nolw'ekyo, omukristaayo ye muntu azaaliddwa Katonda omulundi ogw'okubiri.( Yokaana 3:3 Yokaana 3:7; 1 Petero 1:23) ng'atadde okukkiriza kwe mu Yesu Kristu. Abafeeso 2:8 etugamba, "kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda:"

Omukristaayo omutuufu ye muntu atadde obwesigge no kukkiriza mu mulimu Yesu Kristu gweyakola, ngotaddeko okuffa ku musaalaba ng'omutango ogwasasulira ebibi byaffe era nemu kizuukirakwe ku lunaku olwokusattu. Yokaana 1:12 etugaamba "Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye." Akabonero akalaga Omukristaayo omutuufu kwe kwagala kwalina eri abalala, nokugondera ekigambo kya Kyatonda. Omukristaayo omutuufu mazima aba mwana wa Katonda, kitundu ku Nyumba ( Soma Famile) ya Katonda era oyo aweredwa obulamu obugya mu Yesu Kristu.

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Omukristaayo yaani?